Tom Muwonge, Mmeeya we Kasangati Town Council olwaleero asiibye atalaaga mu bitundu bya town council y'e Kasangati ebyenjawulo okulaba batya bwayinza okusalira awamu ne town council amagezi kukutuusa amazzi amalunji mu bantu baabwe be baweereza.
Meeya Tom wamu n'akulira okulondoola ebyobulamu mu town council y'e Kasangati Carol Kirunji okuvaayo kiddiridde abantu abenjawulo okuyiza eddoboozi lyabwe mu bakansala baabwe ku kizibu ky'amazi ekyabafuukira ekizibu oluvannyuma lw'okuba nga nnayikonto we baali basena amazzi zaafa dda.
5b14e719 7a96 4d91 8fea 2fbfe9faa8fc
Meeya Tom Muwonge oluvannyuma lw'okulambula ne yeekebejja ebitundu ebisinga nga bibadde bikoseddwa nnyo olw'ebbula ly'amazzi.
Yeeyamye okukola ekisoboka okulaba nga Bannakasangati town council bafuna ekisinga obulunji bwe kituuka ku mazzi.