MEEYA wa munisipaali y’e Nansana, Regina Bakitte alagidde bakansala bonna okutegeeza abantu lwaki amakubo gakolebwa.
Yabategeezezza nti, lino ly’ekkubo lyokka eririna okuleeta enkulaakulana mu Nansana naddala mu bitundu by’omu byalo kuba n’amalwaliro agamu gatandise okusuumuusibwa okudda ku mitendera egya waggulu, ate nga n’amasannyalaze gatambuziddwa.
Abasabye obutakotoggera nteekateeka eno kuba bakkansala bamaze ekiseera nga balaga okulaajana kw’abatuuze nga y’ensonga lwaki munisipaali yagula ttulakita okugaziya amakubo kye baatandise.
Bwe yabadde yeetabye mu kuziika Robinah Namagambe abadde asoma mu Top Class mu Genisis Jr School e Tungwa-Gombe ng’ono muwala wa Livingstone Ssenkubuge, Meeya Bakitte yabalabudde okwewala okugulirira ba yinginiya b’enguudo okubawugula obutayingira mu bibanja byabwe ky’agamba nti, kizing’amya enkulaakulana.
Ssentebe wa divizoni y’e Gombe-Wakiso, Ronald Kasiriivu yategeezezza nti, abatuuze mu byalo okuli; Nkene, Ssaayi ne Kitungwa babadde n’essuubi ly’okuliyirirwa nga bagaziya amakubo, Meeya Bakitte kye yagambye nti, tekiriiyo.