Mayiga alabudde abazaala abaana be batasobola kuweerera

BANNABUTAMBALA balombedde Katikkiro wa  Buganda, Charles Peter Mayiga dduwa okumwebalizaako Katonda olw’emyaka 12 ng’akutte Ddamula, n’alabula abazadde abazaala abaana be batasobola kuweerera.

Katikkiro Mayiga (owookubiri ku ddyo) yeegattiddwako Supreme Mufti Sheikh Galabuzi (kui ddyo) wamu ne Katambala (owookusatu ku kkono) okusala keeki y’emyaka 12 ng’akutte Ddamula.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

BANNABUTAMBALA balombedde Katikkiro wa  Buganda, Charles Peter Mayiga dduwa okumwebalizaako Katonda olw’emyaka 12 ng’akutte Ddamula, n’alabula abazadde abazaala abaana be batasobola kuweerera.
Dduwa eno ekulembeddwaamu Supreme Mufti Sheikh Mohammad Galabuzi ng’ayambibwako Bakhadhi  mu disitulikiti eziri mu bugwanjuba  bwa Buganda nga
yabadde ku muzikiti gwa Kibibi Muslim SS mu kabuga k’e Kibibi eggulo ku Lwokubiri,
ery’omwami w’essaza Katambala  Hajji Sulaiman Magala.
“Tusaba Katonda amwongere obuvumu, amaanyi ng’aweereza Obuganda ne mukama we,
Ssaabasajja Kabaka amwongere ebisanja,” Sheikh Galabuzi bwe yagambye.
Oluvannyuma lw’okusaala, baagenze mu kisaawe awaategekeddwa omukolo n’okusala keeki ey’ekijaguzoMu kwogera eri Bannabutambala, Mayiga yagambye nti okusoma
oba ebyenjigiriza ku mulembe guno, gwe munnyo gw’ensi. Yalaze essanyu nti edda abantu mu kitundu kino baali bateeka essira ku busuubuzi naye kati bakyusizzaamu
nga n’ebyenjigiriza babijjumbira n’agamba nti kino kyakukuza ekitundu.“Okusoma tekwewalika era enkola ey’obutasomesa baana, eteekwa okudibizibwa. Okuweerera abaana kuba kwefi iriza. Bw’obeera toyagala kuweerera baana, tobazaala.
Muweerere abaana awatali kwenyonyongoza,” Mayiga bwe yakubirizza abantu.
Minisita w’ebyenjigiriza mu Buganda, Coltilda Nakate Kikomeko yeebazizza Katikkiro olw’okuwagira ebyenjigiriza.
Katikkiro yatandise obugenyi bwe n’okulambula Gombe SS  nayo eri mu Ggombolola y’e
Kibibi n’ayanirizibwa omukulu w’essomero, Hajji Abdul Zzimbe