MASAKA City efunye obukadde 500 okuddaabiriza enguudo eziri mu Divizoni ya Kimaanya - Kabonera ne Nyendo - Mukungwe. Mmeeya w’ekibuga Masaka, Florence Namayanja yategeezezza nti, ensimbi zino zigenda kuddaabiriza enguudo okuli Kirumba Avenue 1.60km, Kyeyagalire 0.6km, Wakasonko
- Kiwaala - Kikulula - Kiyumba
2.30km ne Kayunga - Lwabikere
- Kalagala 70km nga zino ziri mu Nyendo - Mukungwe ate Kimaanya - Kabonera kuliko
Luteete - Kabukolwa 2.5km, Bukoona Fr Kimbowa 3.0km, Forest 2.6km, Kasanje-Lufumba 3.0km ne Kasanje – Kabonera 4km.
Namayanja yategeezezza nti, okuddaabiriza enguudo zino kwa kutandika nga bamaze okufuna ebyuma n’agamba nti, baafuna obuzibu aba minisitule y’ebyobulimi bwe baatwala ebyuma ebyali bikola akagga ka Kyenvubu era omulimu gwayimirizibwa nga balindiridde bwe balibibaddiza nga kati kikaluubiriza abalimi okweyambisa oluguudo luno.
Yayanjulidde kkanso embalirira eyayisiddwa akakiiko k’ebyenguudo eya 2024/25 ey’obukadde obusoba mu 300 n’alaga nga bwe baafunako obukadde 20 ne zeeyambisibwa okusasula abakola omulimu gw’okulabirira enguudo wadde nga kati babanja emyezi esatu. Namayanja yalaze okutya nti, ssinga abantu bano balwawo okusasulwa kyandikosa enkola y’emirimu n’asaba akulira emirimu gy’ekibuga, Daniel Christopher Kaweesi okulondoola ensonga eno.
Ssentebe w’akakiiko k’ebyensimbi, Tom Luyobya yalaze nti, mu kaweefube w’okwongera ku musolo balowoozezza ku kuggya ku bavuzi ba boda omusolo. Luyobya
agamba nti, beesanze nga bano ebifo mwe bakolera babicaafuwaza kyokka nga tebalina ke baddiza kibuga