MAAMA alina omwana alina obulwadde bwa nnalubiri nga kati bwatuuka n’okusannyalaza mutabani we asobeddwa olw’okusaasaanyiza ssente ennyingi ku mwana ate embeera n’egaana okutereera.
Elizabeth Nahuula Ng'alaga Ebbaluwa Mutabani Kw'abadde Ajjanjabirwa Mu Ddwaliro E Mulago.
Kati yeetaaga obukadde 150 okugenda e India omwana alongoosebwe kyokka ssente zimuweddeko. Ono asabye abazirakisa bamuyambe.
Maama asobeddwa ye Elizabeth Nahuula, omutuuze w’e Naluvule mu disitulikiti ye Wakiso nga mutabani we Dalton Paul Mwesigwa ow’emyaka 4 yazaalibwa n’obulwadde bwa Nnalubiri kyokka nga baabuzuula awezezza omwaka mulamba.
Dalton Paul Mwesigwa Mutabani Wa Nabuula Ng'ali Mu Ddwaliro Gy'akyusiza Omusaayi.
Baatandika okufuna obujjanjabi obwetaagisa okuva mu ddwaliro e Mulago kyokka waayita ebbanga ttono omwana n’afuna obulwadde bw’okusannyalala.
Wano abasawo abakugu baabawa amagezi okutandika okumukyusanga omusaayi entakera ne babagamba nti lw’ajja okufuna ku buweerero.
Ono mu mwaka gumu bamukyusizza omusaayi emirundi etaano nga buli lwe gukyusibwa babaggyako obukadde 3 n’ekitundu nga kati ssente zibaweddeko.
Mwesigwa, Mu Kumukyusa Omusaayi.
Kyokka embeera eri bweti, ate abasawo baabategezeeza nti mu kiseera kino omwana ne bwe bamuteekako omusaayi tegukyamuyamba bulungi kubanga mu mu mubiri mulimu obuwuka obutakkyakkiriza musaayi kumuteekebwako kukola.
Baategeezezza nti ekijulidde kumutwala India kumulongoosa busomyo era baategeezezza nti beetaaga obukadde 150 alongoosebwe.
Nahuula wano we yasabidde abazirakisa bonna mu ggwanga okumuyamba omwana we asobole okutaasa obulamu bw’omwan awe ng’amutwala mu India ajjanjabibwe kubanga ssente z’akozesezza nnyingi nnyo nga kati zimuweddeko. Ennamba ya Nuhuula eri 0704854286 ne 0777945100.