Maama avumbise engalo z’omwana we ow’emyaka etaano mu kyoto n’amwokya lwa kulya ggolu lya muceere n’ennyama ebyasuze mu ntamu
Omwana baasalawo okumukweka mu nnyumba era poliisi w’emukwatidde wamu ne bba, engalo z’omwana zibadde zitandise okuvunda.
Maama w’omwana agamba nti yasalawo okumwokya asanyuse bba kubanga buli lw’agula ennyama oba eby’ennyanja omwana abikwatamu olwo ye omwami n’alowooza nti omukazi yeekobaana n’abaana ne babimulyako era awo ayomba n’okukuba n’akuba.
Omwana Eyayokeddwa Nyina Olw'okukwata Mu Nva. Ekif;saul Wokulira
Abatuuze baalumirizza abafumbo bano olw’okwekobaana ne batulugunya omwana gwe beezaalira era nti baalaba Taata nga asamba omwana ono okukira omupira gwa ttena.
Bano batuuze ku kyalo Busunsuli mu ggombolola y’e Busaana mu disitulikiti y’e Kayunga.
Ku lunaku lwa Iddi, nnyinimu Kairanhe Jamada yagula kkiro y’ennyama ne balyako ate ebifi ebimu ne babitereka era bwe baakomawo okuva mu nnimiro ku ssaawa nga 8:00 (munaana) ez’olweggulo, omu ku baana n’akabatema nti ennyama n’eggolu ly’omuceere ebyasuzeemu omwana abiggyeeyo n’abirya ne banne era okukakasa kino baatunula mu ntamu nga njereere.
Collins Kafeero Nga Ali Nabirye Ne Mutabai We Gweyayokezza. Ekif;saul Wokulira
Nnyina w’omwana Kolositiika Nbirye (19), atugambye nti obusungu bwamukwata kubanga baali mu nnimiro nga balina essuubi nti batuukira ku nnyama wabula baasanga omwana ne banne bagyegabudde.
Jamada Kairanhe (32), kitaawe w’omwana ye yasooka okumukwata n’amusambasamba n’amukasuka ne yeekuba ku kikonge ky’omuti gw’emmwanyi n’oluvannyuma nnyina n’amukwatamu ye n’asalawo okumuvumbika engalo mu kyoto kwe baali bafumbira caayi n’amwokya aggweemu okutoola bye batamuwadde.
Okuva olwo baasirika era omwana babadde bamukuumira mu nnyumba okutuusa abatuuze lwe baatemezza ku ssentebe w’eggombolola y’e Busaana, John Olwenyi, eyagenze ku poliisi e Busaana n’aloopa era abazadde abo ne bakwatibwa.
Kairanhe Ne Mukyala We Nabirye Nga Bali Ku Poliisi E Busaana Eyabakutte Olw'okwokya Omwana Wabwe. Ekif;saul Wokulira
Olwenyi agambye nti abatuuze balina obujulizi nti abafumbo bano babadde batulugnya omwana.
Twogeddeko n’atwala poliisi y’amaka n’abaana e Busaana Chebet Rose n’atubuulira engeri gye baaliimisizza abafumbo bano okutuuka okukwatibwa.
Collins Kafeero ow’amaka n’abaana mu disitulikiti y’e Kayunga yatutte emmotoka n’aggyayo omwana okumutwala mu ddwaliro afune obujjanjabi era n’abasibe ne baweerezebwa ku poliisi e Kayunga gye banaggyibwa batwalibwe mu kkooti bavunaanibwe emisango gy’okutulugunya omwana waabwe.