ABAKYALA abeenyigira mu kukozesa enkola z’okugereka abaana ezaakazibwako erya kizaalaggumba bakikola okuteekerateekera amaka gaabwe n’obutazaala baana be bateetegekedde.
Abasawo abakugu mu nkola zino bagamba nti, buli mukyala alina okumanya enkola eneemukolebwako okusinziira ku mbeera z’obulamu bwe kimuyambe obutafuna buzibu bwonna ng’atandise okukozesa enkola zino.
Musawo Sarah Kajote, ow’eddwaaliro lya St. Clare ajjanjaba abakyala, okuzaalisa awamu n’enkola za kizaalaggumba annyonnyola omukyala by’alina okwegendereza nga tannasalawo nkola gy’anaakozesa::
Enkola ya kizaalaggumba za mirundi mingi omuli omukyala n’omwami ze basobola okukozesa nga basinziira ku butonde bwabwe awatali kugenda muddwaaliro ate n’ezo eziweebwa abakyala mu malwaliro ag’enjawulo.
Okusalawo ku nkola ki eneekozesebwa, wano omusajja n’omukazi balina okutuula n’abasawo ne basomesebwa era ne basalirawo wamu ku nkola eneebanguyira okukozesa nga basinziira ku baana be balina n’abo be baagala okuzaala era n’ebbanga lye babeera baagala okumala nga tebannazza ku mwana.
Enkola ez’obutonde ezisobola okukozesebwa mulimu :
l Omukyala okubala kalenda ey’ennaku ze z’agenderako mu nsonga: Enkola eno nnungi wabula yeetaagisa omukyala omwegendereza ng’amanya ennaku z’aba alwaliddeko omwezi era n’atandika okubala okuva ku lunaku olusoose okutuuka mu nnaku 10 ku 14.
Bw’otandika olunaku olwe 10 olina okwegendereza bw’oba ogenda kwegatta n’omwami wo n’okozesa kondomu okutuusa ku lunaku olwa 14.
Waliwo abantu abazikozesa era ne zibayamba obutamala gazaala baana be bateetegekedde, wabula omukyala atasobola kwebalira nnaku enkola eno aba tajja kugisobola.
l Okuyonsa omwana: Enkola y’okuyonsa omwana ekola okutuusa ku myezi mukaaga wabula olina okuba ng’oyonsa mu lunaku emirundi egiwerera ddala kuba buli lw’okikola obusimu obuleeta amabeere ate butta obusimu obuyamba omukyala okufuna olubuto. Wabula abo abayonsa ebbalirirwe tebeetantala nkola eno.
l Omusajja okwegendereza okuyingiza enkwaso mu mukyala era enkola eno ekozesebwa abo abeegendereza, wabula si ya nkomeredde. Omusajja asobola okugikozesa naye omukyala n’afuna olubuto.
l Enkola ey’okuviira ddala ku by’okwegatta y’esinga okuyamba wabula eno ekolera abo abatali bafumbo.
ENDWADDE Z’OLINA OKWEKEBEZA NGA TONNATANDIKA NKOLA ZA KWEGEMA KUZAALA
Tulina enkola za kizaalaggumba mulimu omwateekebwa eddagala ate waliwo n’ezo omutateekebwa ddagala wabula ng’omuntu aba alina okusooka okwekebeza okumanya obulamu bwe we bubeera buyimiridde okusalawo nkola ki gy’aba akozesa.
Kikulu agenda okutandika enkola zino okugenda mu ddwaaliro eririmu abasawo abakugu ne basooka bamwekebejja obulamu bwe. Omukyala alina okusooka okwekebeza obulwadde bwa puleesa n’okwepimisa obuzito bwe, kino kikolebwa kuba enkola za kizaalaggumba ezimu zirimu eddagala ebiseera ebimu erivaako omugejjo, ng’omuntu bw’aba ne puleesa eddagala eryo lisobola okuttula obulwadde.
Omuntu alina puleesa aba alina okukozesa enkola za kizaalaggumba ezibeera zitaliimu ddagala okuziyiza okufuna obuzibu.
Abantu abalina endwadde nga asima, sukaali, endwadde z’ensigo nabo balina okwewala okukozesa enkola za kizaalaggumba ezirimu eddagala kuba endwadde zaabwe zisobola okuttuka oba babeera balina okutegeeza abasawo ne bababuulira okusala ku myaka gye babeera bagenda okukozesa enkola ezo, bw’aba abadde ayagala kumala emyaka etaano abeera asalako n’akozesa ey’emyaka esatu.
Mu nkola ez’ebbanga erimpi mulimu zino:
l Empeke : Waliwo empeke za kizaalaggumba ezimiribwa buli lunaku era nga zino zikozesebwa abo ababeera baagala okumala akaseera akatono okugeza nga emyezi mukaaga kuba essaawa yonna babeera baagala okuddamu okufuna olubuto.
Waliwo empeke ezimiribwa singa omukyala yeegatta mu nsonga z’omukwano nga teyeekakasa nnaku ze bulungi. Wabula zino tezirina kukozesebwa kusukka emirundi ebiri mu mwaka, kubanga bw’akikola abeera n’emikisa gy’okulwala kookolo wa nnabaana n’ow’amabeere kuba mulimu eddagala ery’amaanyi erikyusakyusa obusimu bw’omukyala. Enkola eno obuzibu bw’erina bw’abo abagikozesa ne bamala ebbanga nga tebagenda mu nsonga ate bwe bazigendamu ne bafulumya omusaayi mungi. Kyokka ate waliwo n’abagenda mu nsonga ebbanga eddene nga bakubiddwa empiso era waliwo n’abatagifunamu buzibu bwonna.
l Empiso: Empiso ebeeramu eddagala lye limu n’eribeera mu mpeke, wabula eno ekola okumala emyezi esatu. Waliwo n’enkola eyajja ng’omukyala asobola okwekuba empiso eno mu maka ge, kyokka era bw’ebeera tesiimye mubiri gwo, ofunamu obuzibu obutonotono ng’okuddihhana mu nsonga oba obutagenderamu ddala, omugejjo, okulumwa omutwe, okuwulira ng’ali olubuto, wabula nga bw’emanyiira omubiri gwo oba otereera bulungi.Empeke essibwa mu mukono : Eno ekola okumala emyaka esatu, wabula omuntu aba asobola okugiggyamu newankubadde emyaka esatu gibeera teginnawera.
l Akaweta ku nnabaana: Kano kakola okutuusa ku myaka 10 era mulimu akaweke akalimu eddagala n’ako akataliimu ddagala. Obulungi bw’akaweta kano akabeera kataliimu ddagala kalungi eri buli muntu era n’abakyala ababeera tebannazaalako bakubirizibwa okwettanira kano kuba tafuna buzibu mu kufuna lubuto ng’atuusizza okwagala.
Akaweta ka nnabaana akataliimu ddagala era kalungi ne ku bantu abalina endwadde ez’enjawulo okuli abalina akawuka ka siriimu, aba ssukaali, puleesa, abalwadde b’ensigo n’abalina asima. Wabula bakubirizibwa okukakozesa emyaka mitono olw’embeera y’obulamu bwabwe.
Abantu abalina ekizibu kya alaje naddala ava ku by’okwewunda eby’amatu ne mu bulago balina okwewala okukozesa akaweta kyu lw’obulamu bwabwe.
Omuntu yenna akakozesa alina okuba omuyonjo, wadde nga tekalina buzibu kasika mangu endwadde ez’ekikaba naddala eziva ku bucaafu ng’okukozesa kaabuyonjo enjama, obuwale obujama oba obukadde, n’okwewala okumala geegatta n’abasajja ab’enjawulo kuba obulwadde busobola okumukwata amangu.
Kino n’abasajja balina okuyambako abakyala nga beegendereza obutamala geegatta n’abakazi ab’enjawulo abayinza okubasiiga endwadde z’ekikaba ate nabo ne bazisiiga bakyala baabwe.
Ssinga omukyala aba afunye obuzibu ng’akozesa akaweta kano, alina okugenda mangu mu ddwaaliro ne yeekebejjebwa n’afuna obujjanjabi.
l Okukozesa kondomu : Mu Uganda, enkola ey’okukozesa kondomu ekozesebwa nnyo era eyambye abantu bangi. N’abantu be tuteekamu akaweta tubawa kondomu ze balina okukozesa okumala ennaku musanvu akaweka ze katandikirako okukola.
l Enkola ya kizaalaggumba ey’olubeerera: Wano omukyala bamusala enseke ezitambuza enkwaso z’omusajja okutuuka ku magi g’omukyala, wabula eno erina okukozesebwa abo bokka ababeera basazeewo obutaddamu kuzaala era okusalawo kulina kukolebwa omwami n’omukyala.
l Okusala omusajja enseke: Okusala omusajja enseke nayo nkola ya kizaalaggumba era nga kino kikolebwa ng’abaagalana basazeewo obutaddamu kuzaalira ddala era kisalibwawo omusajja n’omukazi.
l Enkola ey’okuggyamu omukyala nnabaana. Waliwo enkola ey’okuggyamu abakyala nnabaana, wabula eno si nkola yakizaalaggumba, naye ekolebwa kw’abo ababeera balina ekirwadde kya kookolo era omuntu omulamu obulungi si kirungi kumugyamu nnabaana.
EMYAKA KWE WATANDIKIRA OKUGENDA MU NSONGA GISALAWO ENKOLA
Omukyala eyayanguwa okugenda mu nsonga okugeza nga yatandikira ku myaka 10 aba alina emikisa mingi egy’okuzaala kuba asobola okuzaala okutuusa ng’awezezza emyaka 50 era omukyala ow’ekikula kino abeera asobola okukozesa enkola ya kizaalaggumba yonna kasita taba na ndwadde emukugira. Omukyalaeyatandika okugenda mu nsonga ng’alina emyaka 17 n’okudda waggulu alina okwegendereza eby’okukozesa enkola zino kuba emikisa gye egy’okuzaala abaana abangi giba mitono. Omukyala bw’ati abasawo bamukubiriza okukozesa enkola za kizaalaggumba ezitaliimu ddagala oba ez’obutonde.
Abakyala abagenda mu nsonga okugeza emirundi ebiri mu mwaka nabo balina okwewala okukozesa enkola za kizaalaggumba ezirimu eddagala kuba kisobola okuvaako obutazaala oba okuzaala abaana abatono.