Liz Truss abaddde yaakalalondebwa ku Bwakatikkiro wa Bungereza alekulidde

Liz Truss, Katikkiro wa Bungereza abadde akyali omugole awuniikirizza ensi yonna bw'alekulidde nga yaakamala mu kifo kino ennaku 45 zokka.

Liz Truss abadde Katikkiro wa Bungereza.jpg
By Wilson Ssemmanda
Journalists @New Vision
#Liz Truss #alekulidde #Bwakatikkiro #Bungereza

Bya Wilson Ssemmanda 

Liz Truss, Katikkiro wa Bungereza abadde akyali omugole awuniikirizza ensi yonna bw'alekulidde nga yaakamala mu kifo kino ennaku 45 zokka.

Bw'abadde alekulira alangiridde nti omusika we waakulondebwa ab'ekibiina kye ekya Conservative Party wiiki ejja w'enaggweerako.

Kigambibwa nti Truss asazeewo okulekulira oluvannyuma lw'ababaka b'ekibiina kye abasinga obungi mu Palamenti ya Bungereza (UK) okusimbira ekkuuli amateeka n'enkola z'ebyenfuna Truss by'abadde ayagala okuleeta okuzza obuggya ebyenfuna bya Bungereza.

Truss yalondebwa mu September, kyokka obuyinza bugenze bumuva mu ngalo olw'okwesunaasuna okubaddewo mu kibiina kye ng'ababaka bangi tebawagira nkola z'abadde ategeka okuleeta mu Palamenti ey'awamu.

Era ategeezezza nti alekulidde kubanga alemeseddwa okuweereza ng'ekibiina kye ekyamulonda ekya Conservative Party bwe kyasuubira.

Truss ategeezezza nti waakusigalawo okutuusa ng'omukulembeze w'ekibiina ekyo omuggya alondeddwa n'okukakasibwa Kabaka Charles III nga Katikkiro wa UK omuggya, olwo Truss alyoke aveewo.

Truss eyayingira ofiisi eno ennaku 45 eziyise afuuse Katikkiro wa Bungereza akyasinze okumala akaseera akatono mu kifo kino mu byafaayo bya Bungereza.