Ben Wallace asazizzaamu eby'okuvuganya ku kya Katikkiro wa Bungereza

Ben Wallace asazizzaamu ebyokuvuganya ku kya Katikkiro wa Bungereza, asembye okudda kwa Johnson MINISITA w'ebyokwerinda owa Bungereza, Ben Wallace agambye nti talina ssuubi lya kwesimbawo ku Bwakatikkiro wabula mu kiseera kino ali mabega w'eyali mukama we Boris Johnson nga bwe yeetegereza akalulu bwe kanaatambula

Ben Wallace ku kkono ate ku ddyo ne Boris Johnson
By Wilson Ssemmanda
Journalists @New Vision
Ben Wallace asazizzaamu ebyokuvuganya ku kya Katikkiro wa Bungereza, asembye okudda kwa Johnson
 
MINISITA w'ebyokwerinda owa Bungereza, Ben Wallace agambye nti talina ssuubi lya kwesimbawo ku Bwakatikkiro wabula mu kiseera kino ali mabega w'eyali mukama we Boris Johnson nga bwe yeetegereza akalulu bwe kanaatambula
 
Minisita ono ayagalwa ennyo mu kibiina ekisinga ababaka abangi ekya Conservative Party ategeezezza nti akyetegereza okulaba oba wanaavaayo kandideeti ayinza okuba owaamaaanyi okusinga Boris gw'akyayimiriddeko.
 
Abanaavuganya okusikira Liz Truss eyalekulidde ku Lwokuna balina okutuusa ku ssaawa 8:00 ez'olweggulo lwa Mmande okuba nga buli omu akung'aanyizza obuwagizi bw'ababaka ba Palamenti abawera 100 okusobola okwesimbawo.
 
Wabadde tewannabaawo yeesowolayo mu butongole nti ayagala kwesimbawo, kyokka egava mu nsonda ez'enjawulo zgalaga nti enkambi ez'enjawulo zaatandise dda okukuyega ababaka okuziwagira omuli ey'eyaliko Katikkiro - Biris Jonson, Rishi Sunak eyavuganya ennyo Liz Trus mu kalulu akaakaggwa, Penny Mordaunt, Sir Keir Starmer owa Labour Party n'abalala.