Lipooti eraze nti abeebigere n'abasaabala ku bbooda be basinze okufiira mu bubenje

Obubenje buno, bwasinze kuleetebwa ndiima, n'okuyisiza mu bifo ebikyamu. 

Lipooti eraze nti abeebigere n'abasaabala ku bbooda be basinze okufiira mu bubenje
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision
#Amawulire #Alipoota #Mawulire

Abatambulira ku pikipiki, abasaabaze n'abeebigere, be basinze okufiira mu bubenje obwaguddewo wiiki ewedde. 

Obubenje buno, bwasinze kuleetebwa ndiima, n'okuyisiza mu bifo ebikyamu. 

Akamu ku bubenje obwabaddewo, keeko omwafiiridde Ssentebe wa disitulikiti y'e Kamuli Maxwell Kawembula e Nakifuma, n'akalala omwafiiridde abantu basatu n'okulumya abalala mukaaga e Mikikye ku luguudo lwa Mbarara - Ntungamo.

Omwogezi wa poliisi y'ebidduka, Micheal Kananura, alabudde abalina emmotoka eziba zoonoonekedde ku makubo, okussaawo obupande obulaga ekiriwo, mu maaso n'emabega.