Akwatidde Nup bendera ku ky'Obwapulezidenti asabye abantu babulijjo okusonyiwa abakuumaddembe abatulugunya n’abakola ebikolobero n’ategeeza nti nabo babikola tebaagala.

Omukyala ng'adduka za mbwa okweyunga ku bawagizi ba Kyagulanyi e Kira.
Kyagulanyi bino abyogedde ku kisaawe ky’e Kakajjo mu munisipaali eye Kira bw’abadde anoonya akalulu.

Abamu ku bawagizi ba bobi abaabadde bamutambulirako.
Kyagulanyi ategeezazza nti okuva bwe yasimbudde okuva mu maka ge enkya ya leero poliisi n'amagye bazze bakuba ,okutomera n’okukuba abawagizi be ttiyaggaasi awatali musango.
Kyagulanyi agambye nti bino byonna babikola okubasoomooza bafune eky’okwekwasa okubakuba amasasi babatte nga bwe baakoze e Iganga gye basindiridde Masaki Okello amasasi agaamusse.
Kyokka ye omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Rusoke Kituuma wiiki ewedde yategeezezza nga bwe baawera abawagizi okuwerekera abeesimbyewo era okubakubamu ttiyaggaasi babeera babagumbulula.