Amawulire

Gen. Mugisha Muntu ayagala abantu bazuukuse ababaka be baatuma mu palamenti

Gen. Mugisha Muntu ayagala abantu bazuukuse ababaka be baatuma mu palamenti 

Abantu nga bawuliriza Gen. Mugisha muyntu
By: James Magala, Journalists @New Vision

RT.Major.Gen.Mugisha Muntu akunze Bannayuganda okuzuukusa ababaka baabwe bebaatuma mu Palamenti okubakiikirira bwebaba baagala okufuna obuweereza bwa gavumenti.

Mugisha Muntu ng'ayogera

Mugisha Muntu ng'ayogera

Gen.Mugisha Muntu bw'abadde asaggula akalulu mu Disitulikiti y'e Butebo ne Kibuku,abatuuze bamulaajanidde ku bizibu omubadde;Ebbula ly'Eddagala mu Malwaliro,Amasomero,Enguudo embi n'ebirala ne bamusaba nti bw'afuuka Pulezidenti abataase.
 Wabula Gen.Munt asinzidde Butebo n'ategeeza nti mu Disitulikiti ezisoba mu 70 gyeyakayita ebizibu byebimu n'ategeeza nti ekiseera kituuse Bannayuganda bazuukuse ababaka bebaasindika mu Palamenti okubakikirira beyagambye nti bangi balabika bebase!

Abantu abazze ku Rally ya Mugisha Muntu

Abantu abazze ku Rally ya Mugisha Muntu

Gen.Muntu agambye nti Palamenti yeyisa Embalirira y'e Ggwanga n'ategeeza nti ababaka bwebaba tebafuddeyo abantu balina okubazuukusa bababanjize obuweereza omuli;Eddagala mu Malwaliro,okutereeza Amasomero n'ebirala.

Eno Muntu akunze Bannayuganda okumulonda n'ategeeza nti gavumenti yeyakufuba okulabanga obuweereza obulungi butuuka ku bantu.

Tags: