PULEZIDENTI Museveni agumizza abalimi b’amajaani mu disitulikiti omukaaga ezikola ekitundu kya Kigezi nga bwagenda okubateera ssente z’okwewola mu nkola ya PDM omwaka ogujja basobole okwewola bagule ebijimusa.

Pulezidenti Museveni ng'atuuka e Kannungu
“Nkimanyi bulungi nti wano e Kanungi wendi kati ne disitulikiti enddala ezikola Kigezi omuli Kisoro, Kabale, Rukiga, Rukingiri ne Rubanda mwenna muli balimi bamajaani naye temufunamu nga bwe mungambye lwakuba temulina ssente zigula bijimusa” Museveni bweyategezezza

Pulezidenti Museveni ng'abuuza ku bantu
Bino Museveni yabyogeredde ku kisaawe kya Rwere mu ggombola y’e Kirima mu disitulikiti y’e Kanungi gye yabadde agenze okusaba akalulu asobole okuddamu okukwata Entebbe y’obukulembeze bw'eggwanga.