Amawulire

Ku America ne Iran ani yawangudde olutalo

Mu nnaku 38, America ne Iran ze bakubaganye, ani awangudde olutalo? Balwanye buli omu n’alaga bwe yaluwangudde kyokka n’abakugu ne balaga omuwanguzi omutuufu.

Banywanyi ba Iran (aba Houthi) nga bakutte ebyokulwanyisa byabwe okwerinda ennumba za Yisirayiri.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Mu nnaku 38, America ne Iran ze bakubaganye, ani awangudde olutalo? Balwanye buli omu n’alaga bwe yaluwangudde kyokka n’abakugu ne balaga omuwanguzi omutuufu.
Olutalo lwawedde eggulo ssaawa musanvu ez’ekiro mu Uganda, Pulezidenti wa America, Donald Trump bwe yalangiridde nti; Iran ekkirizza okuggula akagolomolo ke yaggala amafuta gayitewo era nti, naye akkirizza okusirisa emmundu ne Yisirayiri bwe babadde bagitokosa. Olwo essaawa 48, Trump ze yawa nga nsalessale wa Iran okukaggula zaabadde zaakaggwaako era n’ategeeza nti;
Katikkiro wa Pakistan, Shehbaz Sharif yamukubidde essimu okumutegeeza nti, Iran ekkirizza okuggula akagolomolo ekyaddiridde kukkaanya kusirisa mmundu ku buli ludda okumala ennaku 14 nga bateesa ku nsonga eziruma amawanga gombi era ezaabatwala mu lutalo nga balemeddwa okuteesa.
Omuduumizi w’eggye lya Pakistan, Field Marshal Asim Munir omu ku baabadde mu nteeseganya naye yabadde musaale mu by’okuteesa.
ENSONGA EZIRUMA AMERICA NE YISIRAYIRI, IRAN ZE YAKKIRIZZA OKUTEREEZA
Trump yasoose kulaga ggwanga lye bwe liwangudde olutalo nti kuba ebyabalumbisa Iran bingi baabifunye omuli;
l Okukuba fakitole za nukiriya waayo.
l Okukuba mizayiro za ballistic- fakitole ezizikola n’ebifo kwe basinziira okuzikasuka.
l Okunafuya eggwanga eryo okuwagira obutujju n’abakambwe abalala nga Houthi.
l Okukkakkanya amaanyi g’eggye lya IRGC.
l Okutta abakambwe ba Iran okuli Ayatollah Ali Khamenei n’abaduumizi b’eggye lya Iran abaludde nga baliisa bannansi akakanja.
ENSONGA AMERICA Z’EYAGALA IRAN EKOLEKO
l Iran okuggula akagolomolo mbagirawo
l Eweeyo ekirungo kya uranium ekikola bbomu za nukiriya
l Obutaddamu kuwagira bwannalukalala
l Okulonda abakulembeze mu ngeri ya demokulasiya abakolagana n’amawanga gonna
l Okuwaayo mizayiro za ballistic ezaasigaddeyo nga tezikubiddwa abakessi ba CIA ze baalengedde.
Ebyo nabyo bwe byawedde, minisita wa America ow’ebyokwerinda Pete Hegseth n’alangirira eggwanga lye bwe lyamezze Iran mu lutalo.

ENSONGA EZIRUMA IRAN Z’EYAGALA AMERICA EKKIRIZE
l Obukakafu nti America ne Yisirayiri teziriddamu kugirumba
l Yisirayiri ekome okukuba Lebanon n’abakambwe ba Hezbollah
l Okuggya nnatti z’ebyobusuubuzi ku Iran
l Okulekera awo okukuba abakambwe ba Iran okuli Hezbollah, Hamas, Houthi n’abalala.
l Ebyo bwe binakkaanyizibwako, Iran yakkirizza okuggula akagolomolo ka Strait of Hormuz.
l Kyokka Iran yasimbyemu akawakatirwa okusolooza obukadde bubiri obwa doola za America ku buli mmeeri eyita mu kagolomolo. Ku ssente ezo ejja kugabanyizaako Oman bwe bakagabana. Ssente ze yasaba America egiriyirire olw’ebintu ebikulu by’ekubye zirekebwe z’eneesolooza mu kagolomolo ze ziba zikozesebwa okubizzaawo.
l Bw’eneggula akagolomolo, Iran eyagala eggye lyayo lye liba liragirira mu butongole emmeeri we zirina okuyita.
Ebyo bwe byawedde, minisita wa Iran ow’ensonga z’ebweru Abbas Araghchi n’alangirira nti, ebyo bwe binakkaanyizibwako ebyabwe binaaba biwedde. Ebyo bwe byawedde, akakiiko ka Iran aka; Supreme National Security Council ak’ebyokwerinda nako ne kalangirira nti, Iran y’ewangudde olutalo.

Bannansi ba Iran baasanyukidde eky’okuyimiriza olutalo.

Bannansi ba Iran baasanyukidde eky’okuyimiriza olutalo.


YISIRAYIRI EKYAKALUBIZZA OLUTALO ERA AWAMU EMMUNDU EKYATOKOTA
Eby’emmundu eyasoose okusirika ate byazzeemu omukoosi n’eddamu mu Lebanon nga Katikkiro wa Yisirayiri, Benjamin Netanyahu agamba nti, ebya ddiiru tebiriimu kusirisa mmundu mu Lebanon.
Okukkakkana nga n’abamu ku bakambwe ba Iran mu nsozi z’e
Isfahan awali emu ku fakitole zaayo ezisinga obunene mu bya nukiriya eya Isfahan Nuclear Technology Center, basitudde buto emmundu bakuba amawanga ga Buwalabu agaabadde gakolagana ne America mu lutalo.
Baasinze kukuba Kuwait, UAE ne Bahrain okusinziira ku mawulire ga Al Jazeera. Kyokka yo bbeeyi y’amafuta yasse oluvannyuma lw’emmundu okusirika mu bitundu ebisinga.
KATI ANI OMUTUUFU EYAWANGUDDE OLUTALO KU AMERICA NE IRAN?
Abakugu bagamba nti, America yawangudde mu kye bayita, ‘tactical military gains’ nti, olutalo lwalaze America bw’ekyali ey’amaanyi ennyo mu by’ekijaasi olw’obukugu bwe yalaze mu; mmundu, ennyonyi ennwaanyi, tekinologiya n’ebirala ebyaleetedde Iran okutya ng’akadde Trump ke yagiwadde okugiseeteeza edde mu budde bwa ‘stone age’ kaweddeyo, n’ekkiriza okuteesa n’okuggula akagolomolo.
Iran yasooka kugamba nti teyinza kuteesa. Trump yasoose kulaga bw’agenda okukuba entindo n’amasannyalaze ga Iran esannyalale emirembe n’emirembe.
America yasse abakambwe ba Iran mu ngeri eyeewuunyisa, nga buli gwe yeetaaga tawona, ekintu ensi kye yali tesuubira.
Mu kikwekweto ky’okusaanyaawo enfo ezikola n’ezitereka ebyokulwanyisa, ekyatandika n’amaanyi ag’ekyewuunyo, kyawedde bakubye tagyeti 13,000 mu Iran.
America okusobola okulwanira ebbanga eryo n’eba ng’efiiriddwa abalwanyi 13 bokka nakyo kyalaze bwe liri eggwanga eritawunyikamu mu byekijaasi.
KU LUDDA LWA IRAN
Iran yeewuunyisizza ensi olw’amaanyi agaali tegagisuubirwamu n’erwana n’eggwanga erisinga amaanyi mu byekijaasi mu nsi yonna, okumala ennaku 38 nga tessizza mukono.
Yagasseeko n’okulwana n’amawanga nga Yisirayiri nga bw’ekuba n’aga Buwalabu amalala agawagira America ng’e byokulwayisa tebigiggwaako.
Abakulembeze baayo abazze battibwa okuli Ayatollah Ali Khamenei n’abalala, ebifo byabwe bizziddwaawo wadde Gavumenti yaayo eyuuga nga ne Ayatollah omupya- Mojtaba Khamenei agambibwa nti yamenyekera okugulu mu lutalo, naye ekyaliwo teyavuunikiddwa.
Abantu we babadde balowooleza nti Iran amaanyi gagiwedde tekyalina mmundu za maanyi, we yakubidde ennyonyi ya America ne lukoya buto.
Abantu ba Iran okugaana okwekalakaasiza Gavumenti nga America bwe yali esuubira, kyayongedde okulaga nti abantu bakkiririza mu bukulembeze obuliwo wadde bunafuyiziddwa nnyo okubattira abakulembeze, kyokka era kiyinza okutegeeza nti Gavumenti ya Iran erina eggatto ly’ekyassa ku bbannansi ne batya okugenda ku nguudo okwekalakaasa.
Iran okuba ng’ekyasobola okussa obukwakkulizo ku America okukomya olutalo, nakyo baakirabye nga ekiraga eggwanga eritagooka mu mbeera yonna
Tags: