Amawulire

Poliisi ezudde emmundu, ente n'endogoyi mu kikwekweto ekikoleddwa e Kotido

Emmundu emu, ente 107 , n'endogoyi 3 bye bizuuliddwa mu kikwekweto ekikoleddwa amagye ne poliisi e Kotido. 

Poliisi ezudde emmundu, ente n'endogoyi mu kikwekweto ekikoleddwa e Kotido
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

Emmundu emu, ente 107 , n'endogoyi 3 bye bizuuliddwa mu kikwekweto ekikoleddwa amagye ne poliisi e Kotido.

Kino kiddiridde ababbi okuteega abantu ku Kabongo - Kotido Rd ne banyaga ssente, ente n'ebisolo ebirala nga beeyambisa emmundu.

Bakutte Loline Lokositaba 65 ne mutabani we, abagambibwa okuba nga be babadde beeyambisa emmundu eno mu bunyazi.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke, agambye nti bano babakwatidde Kanamaro mu Ggombolola y'e Longole e Kotido ng'okubuuliriza kukolebwa.

Tags:
Amawulire
Kotido
Mmundu
Bakutte Loline Lokositaba