AB’EBIBIINA by’obwegassi bawabuddwa okwettanira enkozesa ya tekinologiya kiyambeko okukendeeza ku nsobi mu mbala y’ebitabo n’okwetuumako emirimu.
Bino byogeddwa omukwanaganya w’ebibiina by’obwegassi eby’Obukatoliki mu ssaza ekkulu erya Kampala era nga memba mu kibiina kya KGS Associates ababalirizi b’ebitabo, Allan James Yiga bw’abadde yetabye mu ttabamiruka w’ekibiina kya Mutungo Agali Awamu SACCO atuuziddwa e Mutungo.

Ssentebe wa Sacco, Hasifah Nakandi Mukiibi (ku kkono) nga ayogera
Yiga ategeezezza nti ebibiina by’obwegassi ebisinga biremedde mu nkola enkadde ey’okukuumira ebiwandiiko ku mpapula kwokka kyokka nga kino kyabulabe kubanga ebiwandiiko bino bibeera bisobola okubula essaawa yonna nebasigala mu banga.
Ebibiina ebisinga kati bibeeramu abantu bangi nga kino kikalubya enkola y’emirimu kyokka singa babeera bakozesa ebyuma bikalimagezi kiyambako okukendeeza nekumirimu kubanga bino byanguya ate nga bikola mu bwerufu.

Ssentebe wa Mutungo Zooni III, Srarnley Ssengendo nga ayogera
Ssentebe wa SACCO eno, Hasifah Nakandi Mukiibi yebazaizza bannakibiina bonna olw’enkolagana enungi gyebalaga kyokka neyemulugunya ku bamu ku bantu abatayagala kuzza mangu sente zebwewoze mu budde ky’agamba nti kino kiviirako emirimu egimu okuzinngana nga kino kisiba enkulakulana.
Ssentebe wa Mutungo zooni III, Starnley Ssengendo asabye bannakibiina okwongera okussa amaanyi ku bibasomooza era babinogere eddagala bongere okukulakulana.