Amawulire

Bukedde akuleetedde ettu ly'ebigezo bya Pass PLE ery'enjawulo

OLUPAPULA lwa Bukedde luleese ebigezo bya pass PLE ebiggalawo olusoma olusooka okuyambako abayizi okwegezaamu n’okulaba bwe bayimiridde.

Abayizi nga bakola ebigezo bya Pass PLE
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

OLUPAPULA lwa Bukedde luleese ebigezo bya pass PLE ebiggalawo olusoma olusooka okuyambako abayizi okwegezaamu n’okulaba bwe bayimiridde.
Ebigezo bino bye bisookedde ddala ku mutendera gwa pulayimale bukya minisitule ya byanjigiriza erangirira enteekateeka y’ebyensoma empya ey’okugezesa abayizi okusinziira ku busobozi bwabwe. Akulira okusaasaanya amawulire ga Vision Group efulumya n’olupapula lwa Bukedde, Bruce Byaruhanga, yagambye nti kino bakikoze okuyamba abayizi n’abasomesa b’amasomero amatonotono okutandika okwegezaamu ku ngeri y’okwanukulamu ebigezo.
Ebigezo bino bitegekebwa abasomesa abakugu okuva mu masomero ag’amaanyi. Byaruhanga yagambye nti, byakutandika ku Mmande nga  April 13, okutuuka ku Lwokuna nga April 16 naye olupapula lwakusigala nga lugula shs. 1,000 zokka.
Yasabye abazadde, abasomesa, bannabyabufuzi n’abaagaliza abayizi ebirungi obutasubwa mukisa guno ogw’enjawulo. Ansa z’ekigezo ekinaakolebwanga buli lunaku zaakufulumizibwanga mu Bukedde w’enkeera.

Tags: