Amawulire

Klezia Katulika ekuzizza olunaku lw'abavubuka

Abavubuka bikumi nabikumi bakungaanidde ku kigo ky’e Gayaaza (mu disitulikiti y’e Wakiso) okukuza olunaku lwabwe olw’ensi yonna. Emikolo gy’abaddewo ku Lwomukaaga, nga November 22.

Ssaabasumba ow'essazza ekkulu erya Kampala ne bannaddiini abalala nga abasala cake
By: Mazinga Mathias , Journalists @New Vision

Abavubuka bikumi nabikumi bakungaanidde ku kigo ky’e Gayaaza (mu disitulikiti y’e Wakiso) okukuza olunaku lwabwe olw’ensi yonna. Emikolo gy’abaddewo ku Lwomukaaga, nga November 22.

Abavubuka ku lunaku lwabwe

Abavubuka ku lunaku lwabwe

Gyakuliddwa Ssabasumba Paulo Ssemogerere, ng’ali wamu n’omusigire we owa Vikariyeeti y’e Wakiso, Fr. Jude Makanga, Dayirekta w’obutume bw’abavubuka mu Uganda atuula ku ggwandiisizo ly’Abepiskoopi e Nsambya, Fr. Benedict Mugerwa, akwanaganya Obutume bw’Abavubuka mu ssaza ekkulu ery’e Kampala Fr. Dr. Joseph Mary Ssebunnya, n’Abasaserdooti abalala bangi.

Bweyabadde ayigiriza mu mmisa, Ssabasumba Ssemogerere y’akubirizza abavubuka okwewala abantu bannakigwanyizi,  ababakozesa ebintu ebikyamu ngabeenoonyeza ebitibwa, obuyinza, n’obugagga. Y’anenyezza n’abo abalina endowooza nti obuvubuka kitegeeza kukola fujjo, n’annyonnyola nti emyaka egy’obuvubuka jiba gyakwekukola nituebirig ebgsa Klezia n;eggwanga, era omuvubuka yena asobola okuba omutuukiorivu.

Abavubuka nga boolesa emizannyo ku lunaku lwabwe

Abavubuka nga boolesa emizannyo ku lunaku lwabwe

Abavubuka y’abasabye banywerere ku Yezu, gweyagamye nti yali muvubuka, era nga mubuvubukabwe y’akoleramu ebintu ebirungi bingi ebyayamba abantu n’okubalokola.

 “Baana bange abavubuka,  temukkiriza muntu yenna kubakozesa bikyamu. Abo abagezzaako okubawabya mubaswaze. Mubalage nti muli banjawulo ngamukola ebyo byokka ebibagasa n’okugasa abalala. Mukozese amaanyi n’ebitone byammmwe okwekulaakulanya n’okukulaakulanya abalala. Temubeera basabirizi. Kitaffe Paapa Leo XIV naye kino ky’abasaba. Ayagala mube bajulirwa ba Kristu ab’amaanyi. Muteekeewo enkolagana ennungi wakati we nammwe, Temukkiriza kibi kuyingira mumitima gyammwe.”

“Mweggyeemu amalala. Abantu abakulu mubasseemu ekyitiibwa era mukkirizenga okuwabulwa kwabwe. Abavubuka b’e Karamoja kino bakituukiriza bulungi. Bamaanyi nnyo era balwanyi. Naye abakulu bwebabayita ngabalina ensonga gyebabategeeza, batuula wansi nebawuliriza. Mubayigireko empisa eno,” Ssabasumba Ssemogerere bweyategeezezza,

Abaana nga bayimba

Abaana nga bayimba

Y’abadde ayimba mmisa ey’ekitiibwa, essaza ekkulu ery’e Kampala bweryabadde likuza olunaku lw’abavubuka olw’ensi yonna. Omukolo ogwakungaanyizza ebikumi n’ebikumi by’abavubuka gw’abadde kukigo ky’e Gayaaza, mu disitulikiti y’e Wakiso, ku Lwomukaaga nga November 22.

Ssabasumba Ssemogerere era y’asinzidde kumukolo guno n’asaba abavubuka okweyambisa eddembe lyabwe eribaweebwa Katonda, ne Ssemateeka w’egwanga, beenyigire mu by’okulonda, era balonde abakulembeze abalungi abanaagasa abantu bonna n’eggwanga. Y’awanjagidde n’abo abategeka eby’okulonda, okuteekawo embeera ennungi era ey’obwenkanya n’amazima, kisobozese abavubuka ne Bannauganda bonna okwerondera abantu bebeesimidde, awatali kukakibwa. Ate mu ngeri endala y’anenyezza abavubuka abamu abamala ebiseera ngabawagira bannabyabufuzi, kyokka nga tebewandiisa, Y’abasabye ku mulundi omulala okusookanga okwewandiisa, kubanga bw’oba teweewandiisizza, oba tojja kulonda.

Yo 16

Yo 16

Y’anenyezza abantu abamu abalumba abakulembeze b’eddiini ngabagamba nti basirika busirisi bwewabaawo ebitagemda bulungi mu ggwangaa, n’abategeeza nti Abepiskoopi ba Uganda gyebuvuddeko baawandiika ebbaluwa ngabalungamya Bannauganda kuby’okulonda eggwanga lyekugendamu, n’abasaba bagyisome bulunngi bamanye obuvunaanyizibwa bwabwe.

Munnabizinensi Dennis Ngabirano, eyabadde omugenyi era omwogezi ow’enjawulo, naye y’asabye abavubuka okwagala Katonda, okumuweereza, okuba abayiiya, n’okukola ennyo ngatebasagaasagana, basobole okuba ne ssente ezibasobozesa okubeera obulungi, okulabirira amaka gaabwe, nokutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe mu Klezia n’eggwanga.

Abayizi okuva mu Our Lady of Good Counsel SSS Gayaza.beebaakulembeddemu bannaabwe mukuyimba mu mmisa. Abayizi abalala okuva mu masomero nga God’s Way High School Maganjo, St. Joseph’s PS Busukuma, St. Dennis Ssebuggwawo SS Ggaba, n’aba Blue Army okuva mu kigo ky’e Nakulabye, n’abo baasanyusizza abantu.

Abavubuka nga bakumba ku lunaku lwabwe

Abavubuka nga bakumba ku lunaku lwabwe

Abanene bangi okwabadde omubaka wa Paalamenti ow’abakyala owa District ye Wakiso Ethel, Naluyima, Ssabakristu w’essaza ekkulu ery’e Kampala Emily Kitto Mwaka, n’omumyuka we Billy Nsubuga, nabo omukolo guno baagwetabyeeko.

Abavubuka ba Vikariyeeti y’e Ntebe beebaalondeddwa okutegeka emikolo gy’omwaka ogujja.

Omukolo gw’atambulidde kumulamwa ogugamba nti: Abavubuka nga abalamazi ab’essuubi, mu ssuubi eryo mwetwalokolebwa (Romans 8:24)

Tags: