KKOOTI ejulirwamu egobye ekiwayi kya Geoffrey Kayita ku bukulembeze bw'akatale k’ewa Kisekka(Nakivubo Road Old Kampala Vendors LTD) n'ekuttaka ly'akatale eriwezaako yiika 2 ne desimoolo 60 eryasigalawo ne biddiza ekiwayi kya Robert Kasolo Kisembo ne Simon Peter Lubwama okubikulaakulanya n'okubiddukanya
Ewa Kisekka
Ensala ya kkooti ey'abalamuzi abasatu; Elizabeth Musoke, Steven Musota ne Muzamiru Kibedi ekomezza olutalo lwa ni alina obuyinza ku katale kano era yajunguludde ensala y'omulamuzi wa kkooti enkulu Lydia Mugambe eyali yateeka akatale kano mu mikono gy'ekiwayi kya Kayita nga August 18, 2017.
Abalamuzi bano nga bamaze okwekennenya obujulizi omulamuzi Lydia Mugambe kweyasinzira okuwa aba Kayita obuyinza okudukanya akatale k’ewa Kisekka n'e ttaka erya yiika ebbiri ne desimolo 60,bagambye nti ensala eno teyagoberera mateeka.
Lubwama ng'ayogera
Abalamuzi balaga nti Omulamuzi Mugambe yasussa obuyinza bwe we bukoma ng’awa ensala eno kubanga yasazaamu ekiragiro ky'omukungu wa Gavumenti akola ku kuwandiisa kkampuni eyali aganye obukulembeze bwa Kayita n'ateekawo ekiragiro nti nga Kayita ne banne obuyinza obwe kiseera ku katale kyokka nga mu nkola entuufu yandibadde nga alaaga ekikyamu ekyakolebwa n’abalagira baddeyo ew’omuwandiisi wa Kampani.
Abalamuzi era bagambye nti kkooti terina buyinza kweyingiza mu ngeri kkampuni gyezidukkanyamu emirimu gyabwe n'okulonda abakulembeze.