Bya Musasi waffe.
Kitalo! Omugagga Ssaalongo Edward Musoke 70, eyakazibwako erya Bweyinda olwa kkampuni ye ey'emigaati eya Bweyinda Bakery afudde ekirwadde kya Covid 19!
Ono alwalidde akabanga katoto era yafiiridde mu ddwaaliro lya platinum mu Kampala mu kiro ky'eggulo.
Wano Ng'azina Ne Mutabani We Ku Mbaga Gye Buvuddeko.
Wano Ng'abbonga Ku Muvubuka.
Bweyinda abadde musuubuzi ow'amaanyi era omulimi omukukuutivu abadde alisa abantu bangi amatooke n'emmere endala.
Tujja kusaalirwa nnyo Ssaalongo. Abadde musajja wa kisa nnyo, omukozi ateebalirira, ng'abeera musanyufu ekiseera kyonna, ate nga muwagizi wa Liverpool lukulwe''. Omu ku batuuze b'e Ntebe gy'abadde abeera bw'ayogedde ng'amaziga gamuyitamu.
Aziikibwa nkya e Mmende.