'Kinnumye okuva mu ntebe ng'ennyumba y'Obwakasumba sigiddaabirizza'

CHARLES Ssekitto ebimu ku by'alumiddwa ng'ava mu ntebe y'ennyumba y'Obwakasumba gy'alese nga tagibambazeeko so ng'eri mu mbeera mbi ddala.

'Kinnumye okuva mu ntebe ng'ennyumba y'Obwakasumba sigiddaabirizza'
By Ssennabulya Baagalayina
Journalists @New Vision
Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II y'asiimye n'awummuzza musajja we Ssekitto ku bwa Kasumba ng'ono y'abeera omwami owaggombolola ya Mituba II Bukulula mu ssaza ly'e Buddu.
    
Ssekitto agambye musanyu olwa Ssabasajja okusiima n'amuwummuzza nti naye annyoleddwa obutabambaga ku nnyumba eno nga bw'abadde akyesunga naye ng'obuzibu bwavudde ku ssente ezikung'anyiziddwa okuba entono ne zitamusobozesa.
 
Abadde Kasumba Awaddeyo Offiisi (17)

Abadde Kasumba Awaddeyo Offiisi (17)

    
Agambye nti asobodde okuteekawo amatofaali,omusenyu n'embaawo n'ensimbi enkalu obukadde munaana naye ng'omulimo gwetaaga ensimbi nnyimbi gattako oluguudo olutuuka ku Ggombolola okuva we lwawukanira ku kkubo lya Bukulula-Kalungu.
  
Mu by'ataddewo,lwe lusuku lwa Nabagereka olutaggwamu mmere gattako empaka z'omupiira n'okubaka abawakanira mu kikopo kya Kasumba Cup naye n'annenya abavubuka abatettanira bulungi bintu by'obwakabaka.
 
Abadde Kasumba Awaddeyo Offiisi (96)

Abadde Kasumba Awaddeyo Offiisi (96)

   
N'ekirala kwe kukiika embuga n'abantu be nga batutteyo "oluwalo lwo' ng'era ggombolola ye y'emu kw'ezo ezizze ziwangula n'aweebwa n'ebirabo.
    
Asabye Kasumba omuggya Bonny Kiddu Ssali okwongereza kw'ebyo w'akomye olwo   Bukulula agende mu maaso n'enkulaakulana.
 
Abadde Kasumba Awaddeyo Offiisi (107)

Abadde Kasumba Awaddeyo Offiisi (107)