ABAYIMBI Edrisa Musuuza amanyiddwa nga 'Eddie Kenzo' ne Richard Kasendwa 'Ziza Bafana' bakunze abaagaliza omupiira gwa Uganda okweyiwa kisaawe kyaOld Kampala SS ku Lwomukaaga okuwagira abaagusambako.
Abaagusambako beegattira mu kibiina kyabwe ekya Former Footballers Initiative era
ssentebe waabwe, Paasita Paul Musisi agamba nti, "Ku Lwomukaaga ku ssomero lya Old Kampala, tugenda kubeera n’abaali abasambi b’omupiira okuviira ddala mu 1956 okuli; Baker Kasigwa omu ku baali mu ttiimu eyasambiramu bigere e Bungereza, Davis Kamoga, Simon Omba, Edward Baguma, Godfrey Nyola n’abalala.
Musisi yagasseeko nti; Eno wagenda kubaayo n’abayimbi nga Ziza Bafana eyakuba ennyimba nga 'tuli magye', nnazaala, bantu baffe n’endala. Ziza Bafana yagambye nti, "Ng'enda kubeerayo ne bayimbi bannange nga bwe tusamba omupiira wamu
n’okunyumirwa omuziki.
Kuno Paasita kw’ajja okwongerako n’abayimbi ba Caring Hearts Choir." Kenzo, eyakuba ennyimba nga, sitya loss, tweyagale, semyekozo, balippila boda n’endala yasangiddwa ku kisaawe kya KCCA FC e Lugogo n’akubiriza Bannayuganda okukwasizaako abaagusambako kuba beetaaga obuwagizi bwaffe ffenna si ba mupiira bokka wabula n’abalina omutima ogulumirirwa eggwanga.
Kenzo yakubirizza omujiji omuto okussa amaanyi mu bye bakola leero kuba bye bigenda
okubafuula kye banaabeera enkya nabo boogerweko nga bano abaazannya omupiira ne
bawanirira bendera ya Uganda