Amawulire

Kenya eyanukudde Museveni ku bya Indian Ocean

GAVUMENTI ya Kenya eyanukudde ku bya Pulezidenti Museveni bwe yabadde yeemulugunya ng’alaga obutali bumativu ku mawanga agatalina gayanja ganene ng’ayagala nago gagakozese wadde tegali waago.

Ekitundu ku mwalo gw’e Mombasa oguli ku Indian Ocean.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

GAVUMENTI ya Kenya eyanukudde ku bya Pulezidenti Museveni bwe yabadde yeemulugunya ng’alaga obutali bumativu ku mawanga agatalina gayanja ganene ng’ayagala nago gagakozese wadde tegali waago.
Mu katambi akaasaasaanidde emikutu gya social media wiiki ewedde, Museveni yagambye nti kyewuunyisa eggwanga nga Uganda obutaba na buyinza buzimba ggye lyayo ku Indian Ocean kubanga teririna nsalo ku liyanja eryo.
Alowooza nti engeri gye tuli mu mukago gw’amawanga agagatta obuvanjuba bwa Africa, kyandibadde kisoboka Uganda okukozesa eriyanja eryo okuyisaako ebyamaguzi okubitunda emitala w’amayanja oba okuzimba eggye ry’amaanyi.
Ekyasinze okutambuza akatambi ako, y’engeri Pulezidenti gye yabadde ayogeramu ng’agamba nti, eriyanja lya Indian Ocean lirye. Mu ngeri eno, yabadde alaga nti lya buli muntu nga ne Bannayuganda nabo lyabwe. “Eyo ye nsonga lwaki tubeera mu kuteesa okutaggwa ne Kenya. Kino kiggwa nga ate kiri kitandika bupya. Eggaali y’omukka ate bwe kiggwa nti kati bya ppayipu (y’amafuta) era ne muteesa. Naye eriyanja eryo lyange.

Nange nnina obwannannyini ku liyanja eryo. Mu biseera ebijja, wajja kubalukawo entalo ku nsonga eyo,” Museveni bwe yagambye. Yawadde ekyokulabirako nti twandibadde tugenda mu maaso nga amawanga amalala bwe gaagenda edda n’awa ekyokulabirako kya; America, Russia, China ne Buyindi agaasindika edda abantu ku mwezi.

Omuwandiisi wa minisitule ya Kenya ey’ensonga z’ebweru, Korir Sing’Oei yategeezezza bannamawulir ti, ebigambo bya Museveni abantu baabitapuse kifuulannenge.
“Pulezidenti Yoweri Museveni yabadde ayogera ku bintu bikulu nnyo okusinga ebyo abantu bye baggyeemu.” Sing’Oei bwe yategeezezza okusinziira ku kiwandiiko kya Kenya Diaspora Media. Yagasseeko nti Museveni amanyi bulungi ensalo z’amawanga bwe zitambula, abantu baleme kulowooza nti bye yabadde ayogera tabimanyi

Tags: