EKITONGOLE kya KCCA kizzeemu enteekateeka z’okusimba omuddo mu bifo we gwali gwakala ne kirabula abantu obutageza kugulinnyirira.
Kino kiddiridde ogumu ku muddo ku Luwum Street n’okuliraana omulyango oguyingira mu Kikuubo ogwaali gwasimbibwa okukala olw’omusana n’omulala abantu naddala abatundira ku kkubo okugulinnyirira ne gukala nga kati ezzeemu okugusimba.
Ku Lwokusatu abaserikale ba KCCA abaakulembeddwaamu Hakim Lubega bazzeemu
okusimba omuddo ogwakala mu bitundu ebimu.
Lubega yagambye nti, ku mulundi guno omuddo oguzzeemu okusimbibwa bagutaddeko olukomera okutangira abantu okugulinnyirira era nga bagenda kugufukirira buli kiseera okulaba nga gukula.
Yagambye nti, era abaserikale ba KCCA ba kukuuma omuddo guno okulaba nga tewali
bagutabuliramu wadde abatundiramu ng’abanaakwatibwa baakutwalibwa mu kkooti
bavunaanibwe kuba KCCA kati eri mu kaweefuba wa kussaawo n’okulabirira ebifo ebirina
okubeeramu omuddo wamu n’emiti nga kino kiri mu kibuga Kampala wonna.
Yategeezezza era nti, abaserikale ba KCCA bakeera ku nguudo okutangira abamala gasuula kasasiro n’okulinnya mu muddo.