KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga atandise okulambula abalimi b'emmwanyi mu Ssaza Ssingo.
Asookedde mu maka g'Omulabirizi we Mityana Dr. Ssalongo James Bukomeko,n'asimbawo Emmwaanyi.
Mayiga avumiridde Bannaddiini abasiibya abantu mu masinzizzo nti basaba bafune emikisa mu kifo ky'okukola.
Katikkiro Mayiga ng'abuuza ku Mukwenda Deo Kagimu
Ye BP Bukomeko asabye abakwatibwako okulaba nga ebbeeyi y'emmwanyi tetataganyizibwa, abantu bafune ssente beggye mu bwavu.
Wano wabadde wakunganiddewo Bannabyabufuzi okubadde Omubaka Omukyala owe Mityana mu Palamenti, Joyce Baagala, Ssentebe wa disitulikiti ye Mityana Patrick Mugisha, n'abalala saako Bannaddiini mu kitundu kino.
Ku kyalo Kalagi ewa Simon Kiyingi nga kino kisangibwa mu ggombolola y'e Myanzi mu disitulikiti ye Kassanda ,Mayiga w'asinzidde n'asaba Ababaka ba Palamenti okubaga amateeka aganatumbula obulimi bw'emmwaanyi.
Omwami w'essaza ly'e Ssingo,Mukwenda Deo Kagimu abuulidde Katikkiro ng'ekitundu kino bwekirimu obubbi bw'emmwaanyi.
Katikkiro ng'asimba emmwaanyi
Ate ye Minisita wa gavumenti ez'ebitundu Joseph Kawuki asabye abantu b'e Ssingo okubunyisa obubaka bwa Katikkiro ku bantu abalala babumanye enkulakulana yeyongere.
Omubaka omukyala owe Kassanda, Flavia Nabagabe yeebazizza Kiyingi olw'okukozesa ensimbi okuva mu mmwanyi n'awereera abaana n'akunga abantu okujjumbira okuzirima.
Katikkiro Mayiga akyagenda mu maaso n'okulaba abalimi ab'enjawulo e Ssingo