Katikkiro atenderezza klezia olw'okumulambika obulungi ng'akula

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti Klezia agirinako ebbanja olw'ebintu enkumu ebyamuyigirizibwa bweyali akula.

Katikkiro atenderezza klezia olw'okumulambika obulungi ng'akula
By Dickson Kulumba
Journalists @New Vision

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti Klezia agirinako ebbanja olw'ebintu enkumu ebyamuyigirizibwa bweyali akula.
Mayiga agamba nti ebirungi abantu byebamulabamu byava mu maka mweyakulira nga batambulira ku kulambika kwa Klezia nga bino by'ebimu kwebyo ebimuyambye mu buwereeza bwe eri Kabaka n'Obuganda. 

Okwogera bino abadde asisinkanye Olukiiko olukulira Abakristu mu ssaza ly'e Masaka, abazze okumukulisa okuweza emyaka 12 ng'akutte Ddamula nga Katikkiro wa Buganda bwatyo n'abeebaza olw'okusitukiramu okumukyalirako.

Katikkiro Mayiga asinzidde wano n'ayongera Okukunga abantu ba Buganda, buli waali okufuba okukola ennyo akyuse embeera mwaali edde ku mutindo nga kino kyakuyamba Buganda okudda ku ntikko. 

Abakristu bano bakulembeddwamu Msgr. George William Lubega nga ye Chaplain w'essaza lya Klezia lino ng'ono y'atuusizza obubaka bw'Omusumba Serverous Jjumba mweyebaliza Katikkiro Mayiga olw'okutondawo Pulojekiti eziyambye okuyimirizaawo emirimu gya gavumenti ya Kabaka. 

Ate ye Ssabakristu w'essaza lino ery'e Masaka, Regina Nalubega Kitaka abuulidde Katikkiro nti ensonga nnya kwebasinzidde okujja okumulabako okuli okumwebaza okuwereeza Kabaka obuteebalira, okutuuka ku myaka 12 nga ye Katikkiro wa Buganda saako n'okumuleetera ebirabo ebimwebaza obuwereeza. 

Mu birabo ebimuleeteddwa kuliko ekifananyi kye ekisiige ng'alambula Emmwaanyi z'abalimi b'e Kyegonza e Gomba, eky'Omujjulizi Kalooli Lwanga, amatooke, enkoko n'ebirala ebisabike.

Mu nsisinkano eno, Mayiga abadde n'Omukubiriza w'Olukiiko lwa Buganda, Patrick Mugumbule, Minisita w'amawulire Israel Kazibwe nga n'Omwami w'essaza ly'e Buddu Pookino Jude Muleke abaddewo.