ABAYIMBI abeegattira mu kibiina kya Movement Ewooma Combined Artistes Association baatongozza enteekateeka z'okunoonyeza Pulezidenti Museveni akalulu addemu okufuga eggwanga lino ne mu kisanja ekiggya.
Kaweefube ono yakulembeddwaamu omuyimbi Emmanuel Nsereko amanyiddwa nga Munnamasaka mu lukung’aana lw'abaamawulire lwe yatuuzizza ku ofiisi z'ekitebe kya NRM e Kyadondo mu Kampala.
Nsereko, yannyonnyode nti beesigamye ku mulamwa omupya ogwatongozeddwa ekibiina gye buvuddeko ogwa ‘Tunyweze ebikoleddwa’, baakweyambisa ekitone ky'okuyimba ne katemba bongere okukunga bannansi okussa obwesige mu Gen. Museveni olw’ebirungi by’akoledde eggwanga.
Enteekateeka yaakuggyibwako akawuuwo mu butongole nga September 15, era bategese olukung’aana gaggadde ku kisaawe kya Old Kampala ne bakunga abantu ba bulijjo okulujjumbira kuba mwakubaamu emiziki egisuuta Museveni ne NRM.
Omuyimbi Irene Kusiima yatenderezza Pulezidenti olw'enteekateeka ezitambuliddwaako mu kisanja kino ez'okuggya abantu mu bwavu okuli 'Parish Development Model', Emyooga n’endala n'asaba n'abayimbi ‘abato’ okulowoozebwako.