Kalangwa awakanyizza ebyavudde mu kalulu

MOSES Kalangwa eyesimbyewo okuvuganya ku kifo ky'Omumyuka wa Ssentebe wa NRM mu Buganda era nga ye ssentebe wa NRM e  Kayunga awakanyizza ebyavudde mu kalulu akakiiko k'ebyokulonda mu NRM bwekaalangiridde Haruna Kasolo nga omuwanguzi.

Kalangwa ng'ayogera ne bannamawulire
By Huzaima Kaweesa
Journalists @New Vision

MOSES Kalangwa eyesimbyewo okuvuganya ku kifo ky'Omumyuka wa Ssentebe wa NRM mu Buganda era nga ye ssentebe wa NRM e  Kayunga awakanyizza ebyavudde mu kalulu akakiiko k'ebyokulonda mu NRM bwekaalangiridde Haruna Kasolo nga omuwanguzi.
Nga asinziira mu lukunngana lw'abannamawulire lw'eyise ku lw'okuna akawungeezi ku Hotel Africana mu Kampala, Kalangwa nga ali wamu n'abawagizi be okwabadde ssentebe wa LCV e Lwengo Ibrahim Kitatta, Justine Nameere n'abalala  yemulugunyizza ku byavudde mu kulonda n'alumiriza sentebe w'akakiiko k'ebyokulonda mu NRM Tanga Odoi nga bweyabadde emabega wa bino byonna.
Ategezezza nga bweyawangulidde waggulu mu bitundu ebisinga omwabadde Ankole, Kigezi, Westnile, Teso, Lango  n'ewalala kyokka nga ebyavuddeyo byalaze nti yasingiddwa.
Agamba nti olw'obutali bwenkanya mu byabadde bigenda mu maaso ba Agenti be mu bitundu bino baagaanye n'okuteeka omukono ku mpapula ezikakasa obululu mu bitundu ebyo olw'emivuyo egyetobeseemu.

Ebyavudde mu kalulu ka Kalangwa ne Kasolo

Ebyavudde mu kalulu ka Kalangwa ne Kasolo


Awanjagidde pulezidenti Museveni okuvaayo okubaako ky'akola ku muze gw'okubba obululu ebigenda mu maaso mu kibiina kya NRM ky'agamba nti singa kinagenda mu maaso kigenda kuviirako ekibiina okufiirwa abawagizi nga baddukira mu bibiina ebirala.
Ategezezza nga bo bwebatasobola kwabulira kibiina kya NRM wabula nga mu kiseera kino bagenda kujulira mu mateeka okulaba nga obululu buddamu okubalibwa oba okuddamu obuto okukuba akalulu kano mu bwerufu.
Avumiridde n'ebikolwa by'okusosolasosola mu mawanga ebyeyolekedde mu kalulu kano n'asaba bannakibiina okukikomya kubanga ekibiina kya bantu bonna.
Justine Nameere ategezezza nga omusango guno ogw'okubbibwa obululu bwegugenda okwanguyira ab'akakiiko kubanga obujulizi bwonna webuli obwoleka nti Kalangwa yeyawangudde akalulu kano.
Ategezezza nga bwebaagala okuddamu okugatta obululu bwonna bazuulire ddala ekituufu kubanga bo bakimanyi bulungi nti omuntu wabwe yeyawangudde.
Ssentebe wa LCV e Lwengo, Ibrahim Kitatta yenyamidde olw'emivuyo egyakoleddwa bannakibiina mu maso ga pulezidenti nga tebalina na nsonyi n'agamba nti kyabadde kya kiryazanaanya.
Akakiiko k'ebyokulonda mu NRM kaalangiridde Haruna Kasolo nga omumyuka wa ssentebe wa NRM mu Buganda n'obululu 4194 nga byebitundu 50.3%  ate Moses Kalangwa n'afuna obululu 3981 nga by'ebitundu 47.7 %.