Justine Jjuuko agenda kuzimbira abe Mukomansimbi essomero ly'ebyemikono

Justin Juuko Omuggunzi w’ebikonde eby’ensimbi eyawummula, acamudde abazadde n’abayizi ba Kagologolo Church of Uganda Primary School gye yasomera bw’abasuubizza okuzimba essomero ly’ebyemikono mu kitundu ekyo

Justine Jjuuko ng'ali n'abayizi ba Kagologolo Church of Uganda
By Silvano Kibuuka
Journalists @New Vision

Justin Juuko Omuggunzi w’ebikonde eby’ensimbi eyawummula, acamudde abazadde n’abayizi ba Kagologolo Church of Uganda Primary School gye yasomera bw’abasuubizza okuzimba essomero ly’ebyemikono mu kitundu ekyo.

Alangiridde nti entuuyo ze mu bikonde agenda kuzizimbamu essomero okusobozesa abaana b’omu kitundu okufuna obukugu bw’emirumu bakome okubuungetera mu bubuga nga bakola guno ne guli.

Justine Jjuuko ng'ali ng'abayizi Kagologolo Church of Uganda

Justine Jjuuko ng'ali ng'abayizi Kagologolo Church of Uganda

Bino abitegeezezza abazadde b’asanze mu lukiiko lwabwe era n’aleka nga bajaganya.

Juuko nga kati atendeka bikonde mu Amerika agambye nti kuno kuddiza bantu mu kitundu gy’azaalwa era gye yakulira n’okusoma mu Kagologolo C/U Primary School gye yafunira sikaala okugenda mu mu Kako Primary ne Siniya gye yayigira okuzannya ebikonde.

Agambye nti ettaka kw’agenda okuziimba essomero ly’ebyemikono yaligula mu nsimbi ze yasookera ddala okufuna mu bukonde by’ensimbi mu 1993 ku lulwana lwa Mike Tyson ne Razor Ruddock nga yaakagenda mu Amerika.

Abazadde nga mulimu n’abaasoma ne Juuko basanyukidde essomero lino ly’asuubira okutandika okuzimba wakati w’omwaka guno.

Juuko alaze abazadde emisipi awamu n’omudaali gwa zaabu bye yawangula mu bbanga ly’azannyidde ebikonde by’agambye nti agenda kubiteeka ku katale mu Amerika afunemu ssente okuziimba essomero eryo.

Justine Jjuuko ng'ali n'abayizi ba Kagologolo Church of Uganda

Justine Jjuuko ng'ali n'abayizi ba Kagologolo Church of Uganda

Alambuzza n’abayizi b’essomero ekyo ekifo awagenda okusimbibwa ettendekero eryo n’abakuutira okuba n’empisa ate n’okwettanira emisomo.

Agambye nti ne bamusaayimuto abatendekebwa mu bikonde mu jiimu ye e Masaka bagenda kufuna okutendekebwa mu by’emikono.

Akulira essomero eryo, Denis Serugo ategeezezza asiimye Juuko olw’okuyamba ekitundu wabula n’amukuutira obutasuubiza mpewo.

Amusabye era okuteeka ettofaali ku ssomero lya Kagologolo C/U n’asuubiza okuwa abayizi emipiira egt’okusamba n’okubaka.

Agambye nti ettendekero ayagala litandike mu January wa 2026