Amawulire

Isaac Semakadde bongedde okumussaako ekiwandiiko ekirala

KKOOTI ya Buganda road  ezzeemu okuyisa ekiwandiiko omulundi ogw'okubiri eri akulira ekibiina ekitaba bannamateeka Isaac Ssemakadde ku misango egigambibwa nti yavvoola ekitiibwa ky'omukyala. 

Isaac Semakadde
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

KKOOTI ya Buganda road  ezzeemu okuyisa ekiwandiiko omulundi ogw'okubiri eri akulira ekibiina ekitaba bannamateeka Isaac Ssemakadde ku misango egigambibwa nti yavvoola ekitiibwa ky'omukyala. 

 
Kino kiddiridde ensala y'omulamuzi gyeyakola nga February 17, 2025 mweyaweera ekiragiro Ssemakadde okulabikako eri kkooti mu Jan. 29.2025 asomebwe emisango  gy'okuvuma n'okuvoola ssabawolereza wa gavumenti Jane Frances Abodo wabula n'atalabikako.
 
Kino kyawaliriza omulamuzi Ronald Kayizzi okuyisa ekiwandiiko ekiragira Ssemakadde okulabikako mu kkooti era nga ne kumulindi guno teyalabiseeko.
 
Bannamateeka ba Ssemakadde okubadde Derrick Bazekuketta baasabye kkooti okusazaamu ekiragiro ekyo olw'ensonga nti omuntu waabwe yateekayo ekiwandiiko mu kkooti enkulu ekisaba okuyimiriza omusango guno ogumuvunaanibwa mu kkooti ento.
 
Omulamuzi mu kuwa ensala ye yategeezezza nti eky'okuba nga Ssemakadde alina bannamateeka be mu kkooti tekitegeezz nti bebalina kuyimirira mu kaguli okusomebwa omusango era nga tewali nsonga ya ssimba bano gyebawadde mulamuzi lwaki omuwawabirwa tayalabiseeko eri kkooti.
 
Era wano weyaddiddemu okuwa ekiragiro ky'omulundi ogw'okubiri n'ategeeza bannamateeka be nga bwataggya kuyisa kiragiro kino mulundi mulala era nga ekigenda okuddirira kugenda kuba kuyisa kiragiro kikwata Ssemakadde aletebwe mu kkooti
Tags: