OMUGAGGA Hajji Hassan Bulwadda owa Bulwadda Estate e Kyanja n’e Kigo aduukiridde abakosebwa kasasiro eyabumbulukuka n'abuutikira ebyalo bisatu n’aleka abantu abawera nga bafu n’e bintu ebikozesebwa mu bulamu obwa bulijjo.
Okuva ku Lwokutaano wiiki ewedde kasasiro lwe yabumbulukuka amaka g’abantu ku byalo ebisatu okuli Kiteezi, Lusanja n’e Kitetika abantu abasoba mu 265 basula mu weema zakitongole kya Red Cross ku ssomero lya Kiteezi P/S. Nga bwe balinda ekiddako okuva eri Gavumenti okulaba bweliyirira abafiirwa abantu baabwe , amayumba gaabwe agabikibwa kasasiro gattako n’abo KCCA beyalagidde bamuke ekitundu ekirinanye kasiro okuva mu miita 200.
Hajji Hassan Bulwadda ng'abuuza ku bantu b'e Kiteei
Ku Lwokuna Bulwadda ne mukyala we Amina Bulwadda bakedde Kiteezi okutwalira abantu abakosebwa enjega eno ebintu ebikozesebwa mu bulamu obwa bulijjo bibayambeko nga ne gavumenti bwe balabirira.
Mu bye batutte mulimu emigaati, omuceere, ssabbuuni , engano ne kalonda omulala era nga eno gye basisinkanidde Juliet Nakyanzi owa baana omusanvu eyasigala mu ttaayo n’abaana be gattako muganda ow’abaana omunana ne nnyabwe omukadde ate nga mulema abasigala nga bemagaza ne yeeyama okumuwa poloti e Busunju.
“Nakyanzi nga walaba ne bizibu ebye mirundi ebiri, nze nakulabye ku mawulire ng’olaajana erinnya lyange nti nkuyambe kubanga ggwe omu kubamenyebwa amaka go mu Lubigi e Nansana ate n’e Kiteezi ennyumba mwobadde obeera ne ffamire yo ate nayo yasanyewo” Bulwadda bweyategezezza.
Hassan Bulwadda ng'atikkula ebimu ku bintu by'aleetedde ab'e Kiteezi
Bulwadda yeeyamye okuwa Nakyanzi poloti futi 50 ku 100 ku ttaka lye ku kyalo Nana mu ggombolola y’e Kikanddwa – Busunju e Mityana. Gattako ssementi gwe yamufunidde okuva ewa Mariam Bulwadda 50, Sofia owe Cicago mu Amerika 50, Hamza Mulema 50, ne Sauda Nkoowe 10. Nga kuno kwe banayongera okumuyamba okulaba nga aggya ffamire ye wabweru.
Yayongeddeko nti agenda kwongera okugabbira abantu abalala 20 , poloti abakozeddwa mu Kiteezi oluvannyuma nga RDC wa Wakiso ne KCCA bamaze okusunsulamu abantu abatuufu.
Dayirekita wa KCCA avunaanyizibwa ku kikula ky’abantu Sheila Birungi Gandi yebazizza Bulwadda okuvaayo naduukirira abantu bano n’e bintu ebyeyambisibwa mu bulamu obwa bulijjo ssaako n’okubasubiza okubawa polooti z’e ttaka 20