WADDE ng’eyafa yali omu, omugenzi Hajji Musa Katongoke eyali owa UTODA, ekibiina ekyali kitwala ttakisi mu Uganda, baamutaddeko abasika babiri okumusikira.

Bamasheikh nga bali mu lumbe lwa Haji Musa Katongole
Hajji Arafat Mutagubya Katongole, mutabani wa Nnamwandu Sannyu Katongole, ye yateereddwako ng’omusika ng’amyukibwa mutoowe-Musa Kigongo Katongole.Bino byabaddewo ku Lwomukaaga e Nakasajja mu disitulikiti ye Mukono. Omukolo gw’okusaako ‘abasika’ gwakoleddwa Ow’olunyiriri mu Kika ky’Ente.

Abantu nga bawoomerwa ekimere mu lumbe
Baategeezezza nti omumyuka yalondeddwa okuyambako ku musika ssinga aba aliko gy’alaze.
Abanene okuva mu gavumenti eya wakati, Obwakaka bwa Buganda, saako bannadiini beetabye ku mukolo gw’okusaako ‘Abasika’ ba Katongole wakati mu kire ky’enkuba ekyatonnye.

Jjajja w'Obusiraamu Omulangira Kasim Nakibinge naye yabaddewo nnyo mu lumbe lwa Musajja we Haji Musa Katongole
Hajji Kaato muto w’omugenzi yasuubizza nti nga ffamire, bagenda kufuba okulaba nga bamaliriza okuzimba omuzikiti ku Kiggya we baziika omugenzi nga bwe yasaba mu kiraamo kye.

Ekimere

Abantu nga bafuna eky'okulya

Aba security nga bafuna eky'okulya