FAMIRE essatira e Kalungu oluvannyuma lw'agambibwa okuba omukuumi w'ettaka ly'ekijja okukala amaaso n'abeefuulira ng'ayagala ku lyekomya n'abantu be mu lukujjukujju.
Bino biri ku kyalo Lusaana mu Kalungu Town Council ku ttaka lya ffamire y'omugenzi Ssemugooma Njalaekeeta eriwerako yiika musanvu ku Block namba 173 ne plot namba 38,ng'ekyapa kiri mu mannya g'omugenzi Maria Nakyagaba naye omwana mu lujja luno.
Abazukulu okuli Peter Sserwaniko ow'emyaka e 90,Rose Namulondo 69,Joseph Mary Katimbo 74,Paulina Najjuka 71 n'abatabani okuli Jimmy Kawele,Trevor Katimbo,n'abalala balumiriza Billy Alex Katimbo 46 okuwamba ettaka lino.
Bano bannyonyola nti Billy Katimbo okutandika okubeera ku ttaka lino yatandika mu mwaka gwa 2001 oluvannyuma lw'okufa kwa kitaawe Sam Kyagaba gwe bagamba nti naye yali mukuumi bukuumi awatali luganda lwonna ku ffamire eno nti okuggyako okufaanaganya omuziro.

Aba Ffamire Joseph Mary Katimbo 74 Ku Ddyo Ne Mwanyina Paulina Najjuka Nga Beekokkola Gwe Baaleeta Ngomukuumi Okwagala Okwezza Ettaka Lyabwe
ENGERI OMUKUUMI GY'ATANDIKA OKUBEEFUULIRA
Bagamba nti Kyagaba ono bwe yafa teyaziikibwa ku kiggya kino kye yali akuuma nti yatwalibwa ku kyalo Kaseesa ekyesudde ebbanga n'ettaka lino nga we awali amaka ge,bwe baalowooza ku muntu omulala eyali ew'okusigala mu nnyumba y'ekijja nga bw'akuuma n'ettaka,kwe kusaba mutabani we ono Katimbo n'akkiriza.
Okusika omugwa kwatandika mu 2010 bwe baateesa ng'ekika ky'Obutiko okuzimbawo ennyumba y'ekiggya empya n'okuyooyoota ebiggya by'abagenzi Ssemugooma Njalaekeeta, mukyalawe Mwaanyi,Zowe Ntongo, Maria Nakyagaba, Antonia Mpabukuliro, Cissy Nakatoligo,Josephine Najjuka ne John Wagaba.
Bannyonnyola nti baateekawo ebikozesebwa okuli omusenyu n'amayinja nti kyokka Katimbo n'akabatema nti baali tebakkirizibwa kukolerawo mulimo gwonna kubanga yali tabamanyi nga bannannyini ttaka lino era n'abategeeza nti Kasimbaazi Wassanyi ow'e Kasaayi mu Kyaggwe nti bbo gwe baali batawulirangako nti ye yali mukama we gw'akuumira nti era omusenyu gwonna n'agusaasaanya mu lusuku amayinja n'agatunda.
Wakati mu kusoberwa eyali akuliddemu okuddukanya ekiggya Cosma Kasirye yaddukira ewa ssentebe wa LCI Bright Ssenyonga nti kyokka eby'embi naye yafa mu 2018 ng'ensonga tezinnaggwa.

Ebiggya Omukuumi Katimbo Ne Kasimbazi Byebalemsezza Ab'ekika Okuzimba
Kasirye we yafiira nga LC 1 ensonga ezisindise mu bakulu b'ekika ky'Obutiko era omubaka wa Ggunju e Buddu - Namutete, Deo Tibalya ne Musiitwa Bbirikadde ow'essiga lya Kabanda,baayita olukiiko mu 2021 ku ttaka lino.
Olukiiko luno lwetabwamu omukugu w'ebyettaka ku disitulikiti e Kalungu Irene Nampiima n'eyali RDC mu kiseera ekyo Caleb Tukaikiriza nti era oluvannyuma lw'okuwuliriza enjuyi zombi ne kisalibwawo nti omukuumi Katimbo ne munne Kasimbazi tebaalina buyinza bwonna kulemesa nkulaakulana yonna ku ttaka lino.
Kawele mu kiseera kino eyaweebwa olukusa okuddukanya ettaka lino ayongerako nti oluvannyuma mu 2022 baatwalayo ebizimbisibwa ebirala nti kyokka ku mulundi guno omukuumi Katimbo yabagobaganya na jjambiya kwe kuddukira ku poliisi e Kalungu ne bamuggulako omusango ogw'okugezaako okubatemula ku fayiro nnamba CRB 144/22 n'atwalibwa mu kkooti y'omulamuzi w'eddaala erisooka e Kalungu Sandra Agness Namudimba nti kyokka n'ateebwa ku kakalu.
Bagamba nti omusango guno gwagenda mu maaso n'okuwulirwa nga ne Kasimbazi agattiddwako nti era oludda lwabwe oluwaabi lwawa obujulizi bwalwo ne buggwayo kkooti n'etuma abawawaabirwa abujulizi abaabwe nga tebabatwala kyokka ekyabeewunyisa,wakati mu kulinda abajulizi omuwaabi wa Gavumenti e Masaka fayiro yagiyita n'agyezza nga tebannyonnyoddwa nsonga yonna.

Rose Namulondo Ne Jimmy Kawele Abamu Ku Ba Ffamire Abalumiriza Omukuumi Okwezza Ettaka Lyabwe
Bano balumiriza nti kano kandiba akakoddyo okuyisa obudde kubanga abasinga bakaddiye ekiyinza okuyamba abeegwanyiza ettaka lino okulitwala nga bannyini lyo abatuufu amaanyi g'okwewuuba mu kkooti gabawedde.
Ssentebe wa Kalungu Town Council, John Kiragga yategeezezza nti ensonga zino zaatukako mu offiisi ye era n'awa omukuumi Katimbo amagezi aleme okukaluubiriza bannannyini ttaka abatuufu kyokka yalabika ng'eyamuzimuula nga kati balinze kinaava mu kkooti.
Kasimbazi gwe balumiriza okwekobaana ne Katimbo okukumpanya ettaka lino wiiki ewedde yakwatiddwa ab'ekitongole kya NIRA ku musango nnamba GEF 232/2023 oluvannyuma lwa mbega wa poliisi e Kalungu Stevens Twasinga okumunoonyerezako ne kizuulibwa nti abadde yajingirira ebiwandiiko ku nfa y'omugenzi Maria Nakyagaba ali ku kyapa ky'ettaka eririko enkaayana.
Wabula Katimbo ne Kasimbazi baagaanye okubaako ne kye bantangaaza ku biboogerwako nga bajuliza munnamateeka waabwe.