Waliwo omutuuze eyeekubidde enduulu mu batwala eby’okwerinda mu disitulikiti y’e Mukono olw’omuvubuka gw’amaze ebbanga lya myaka ebiri nga bawerennemba naye mu nkaayana z’ettaka okukkakkana ku bitooke n’emmwanyi ze ebiwezaako yiika bbiri n’abisaawa n’abireka ku ttaka.
Sam Kimera Musoke omutuuze ku kyalo Nama 1 mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono ye yeekubidde enduulu mu be kikwatako ng’asaba bamuyambe ku muvubuka Rashid Kalema eyeeyita Gen. Mbadi eyakkakkanye ku mwanyi n’ebitooke bye n’abisaawa n’abireka ku ttaka.
Kimera mu bitooke n'emmwanyi ebyasaayiddwa.
Kimera agamba nti omuvubuka Kalema yavaayo n’amwesibako ng’agamba nti kitaawe muto era kwe kudda ku kitundu ky’ekibanja kye n’akiwamba ng’agamba ogwo gwe mugabo gwe
Wabula ye Kimera yamwegaanye ng’agamba nti eky’okuba nti bonna ba kika kya Balangira, tekimufuula kitaawe.
Agamba nti bagulumbye ne mwana mulenzi Kalema nga ye akola gwakumugulira bayaaye abamwonoonera ebintu kati emyaka giweze ebiri.
Kimera gwe baasaayidde emmwanyi n'ebitooke.
Kimera ategeezezza nti ne poliisi lwe yavaayo n’emukwata era olwamutuusa mu kkooti ne bamuta n’atandikira we yakoma okubabatigomya.
Wadde emmere eno yasaayiddwa bw’eti era n’agenda ne ku poliisi ne yeekubira enduulu, poliisi teyasituse kugenda kulaba kyabadde kimutuseeko.
Mukyala wa Kimera, Betty Nassaka naye yeekubidde enduulu ng’agamba nti kati n’eky’okuliisa abaana tebakirina n’asaba bayambibwe kuba n’abaana batuuse okudda ku ssomero ate ng’emmwanyi ze babadde basuubira okunoga batunde bafune ebisale by’essomero zaasaayiddwa kati eky’okukola tebakimanyi.
Kimera n'aba ffamire okuli omukyala n'abaana.
Nsubuga Mugambwa nga mutuuze n’ow’amawulire ku kyalo bavumiridde effujo erikolebwa abavubuka bano abeefudde ba nnantagambwako.
RDC w’e Mukono, Fatuma Ndisaba Nabitaka alaze okunyolwa olw’effujjo eryakoleddwa ku Kimera n’agamba nti Kalema aludde ng’akulemberamu akabinja k’abamenyi b’amateeka abasuza abantu b’e Nama ku butaakye wabula ng’eby’embi bwe baakola kaweefube n’akwatibwa, ate omuwaabi wa gavumenti n’agoba emisango egyali giwera nga 60 gye baali bamugguddeko nga tamaze na kwebuuza ku poliisi mu ngeri buli omu gye yeewuunya.
Kyokka Ndisaba alagidde poliisi okuddamu enoonye Kalema akwatibwe avunaanibwe buto omusango gw’okwonoona emmere ya Kimera.