POLIISI y'e Matugga mu ggombolola y'e Gombe mu Nansana munisipaali esanze akaseera akazibu okutaasa omuvubuuka ku kyalo Lwadda B abatuuze gwe babadde baagala okutta nga bamulanga kumenya kayumba omuterekebwa ebintu ebisiika kyapati n'abibba.
Ebimu ku bintu bye baasanze mu nnyumba ye.
Akwatiddwa ye Najib Kaiza 25, omutuuze w'ekitundu kino ng'abatuuze baamukutte oluvannyuma ly'okubba ebintu bya Sharon Nakate ebikola mu kusiika kyapati okuli fulampeni, ssigiri, amasepiki wamu ne ng'ano nga kw'otadde ne chappati ze yaleseewo.
Kaiza okukwatibwa kyaddiridde abatuuze okumwekengera bwe batyo ne batemya ku bakulembeze b'ekitundu nabo abazze ne balagira Kaiza aggulewo omuzigo gwe basobola okukebera nga Wano olubadde okuggulawo amaaso bagakubye ku bintu bya Nakate.
Kino kiggye abatuuze mu mbeera ne baagala okumugajambula kyokka ssentebe Patrick Senkubuge ne banne bamutaasizza ne bamusibira mu nnyumba ne bayita poliisi nga abaserikale oluzze abatuuze babadde baagala kumubaggyako Kyokka ne babasinza amaanyi bwe batyo ne bamutwala ku poliisi y'e Matugga wakati mu bukuumi obw'amaanyi.
Abatuuze bategeezezza nga obubbi bwe bususse ennyo ku kyalo kyabwe nga Kaiza talina mulimu gwonna gw'akola ng'ayagala bya mangu ekintu ekitabudde abatuuze.
Bano basabye poliisi ekole ebikwekweto ku bavubuuka nga bano kuba boonoona ekitundu kyabwe. Ono bamugobye ne mu nnyumba obutadda mu kitundu kyabwe.
Nakate yagambye nti omuvubuka ono ebintu byabwe bizzenga bibula nga tebamanyi ani abibba nga ye nsonga lwaki bamwekengedde. Kyokka Kaiza yagambye nti ekimubbisizza kwe kubeera nti abadde talina kyakulya ate nga mukyala we nakawere nga n'ebintu abadde waakubitunda asobole okufuna ekyokulya.
Ssentebe Senkubuge yagambye nti bwe baabuuzizza Kaiza ku bintu yabategeezezza nti waliwo omuntu azze n'abimuteresa nga ye tamumanyi era asabye abazadde okulaba nga waakiri bafunira abaana baabwe eky'okukola wamu n'okubayigirizza emirimu egy'omu mutwe.