Gen.Muhoozi awadde ekiragiro ku kizimbe gy'amagye ekizimbibwa e Mbuya

OMUDUUMIZI w’e ggye lya UPDF Gen. Muhoozi Kainerugaba awadde ekitongole ky’a maggye ekizimbi  ekikola omulimu gw’okuzimba ekitebbe kya UPDF e Mbuya  ebbanga lya myezi 11, nga bakiggyeko engalo

Gen.Muhoozi ng'anyumyamu ne bannamagye banne
By Joseph Mutebi
Journalists @New Vision

OMUDUUMIZI w’e ggye lya UPDF Gen. Muhoozi Kainerugaba awadde ekitongole ky’a maggye ekizimbi  ekikola omulimu gw’okuzimba ekitebbe kya UPDF e Mbuya  ebbanga lya myezi 11, nga bakiggyeko engalo

Muhoozi yasabye ekitongole ekizimbi ekya “UPDF Engineers Brigade” okukola ekisoboka okuggya engalo ku mulimu gw’okuzimba ebizimbe by'e kitebe ky'amaggye ebibiri e Mbuya mu bbanga eritasukka myezi 11, kubanga buli kyetaagisa wekiri” Gen Muhoozi bweyategeezezza.

Gen. Muhoozi ng'alambula ekizimbe

Gen. Muhoozi ng'alambula ekizimbe

Bino Muhoozi yabyogedde alambula omulimu gw’ekizimbe bino wegutuuse ogunaateera okutuuka ku bitundu 50 ku 100. Era ba yinginiya bamukakasiza nti mu bbanga ery’emyezi 11, lyabawadde omulimu bagenda kubeera baguggyeko engalo nga offiisi amaggye gasobola okuzikoleeramu.

Gen. Muhoozi ye yeeyatongoza omulimu gw’okutandiika okuzimba ebizimbe bino mu August/2024 era yabadde akomyewo okulaba omulimu we gutusse oluvannyuma lw’omwaka gumu.

Gen.Muhoozi ng'alambula ekizimbe

Gen.Muhoozi ng'alambula ekizimbe

Ekitebe kino ekiggya kisuubirwa okuteekebwamu tekinologye w’e by’okwerinda enayamba okunyweza eby’okwerinda by'e ggwanga ali ku mutindo gw’e nsi yonna.

 Gen. Muhoozi bweyabadde alambula omulimu guno wegutuuse yaweerekeddwako akulira emirimu mu ggye lya UPDF [Chief of Joint Staff] Lt Gen Jack Bakasumba, omuwandiisi wenkkalakalira ow’eggye lya UPDF [Undersecretary of the Ministry of Defence and Veteran Affairs] Edith Butuuro, ne bamayinja b’amaggye abalala mu UPDF.

Gen. Muhoozi ng'anyumyamu ne bannamagye banne

Gen. Muhoozi ng'anyumyamu ne bannamagye banne

            Okusinziira ku yinginiya akulira omulimu gw’okuzimba ekizimbe kino Ying, Lt Col Robert Chabo, yagambye nti basajja be okusinziira ku bukugu bwe balina balina obusoboozi okuwaayo omulimu guno mu budde.

“Mu kiseera kino tusobodde okuba nga tumaze okuzimba okutuuka ku mwaliro ogw’okusattu  nga tutubuzaayo emyaliro ebbiri gyokka”  Ying .Lt Col Robert Chabo bweyategezezz