AMYUKA omwogezi wa NUP, Alex Waiswa Mufumbiro ne munnakibiina Sauda Madaada baggyiddwa ku poliisi ne batwalibwa mu kkooti e Kanyanya oluvannyuma lw'okukwatibwa poliisi ne baggulwako emisango egy’enjawulo.
Sauda Madada ng'akutte ku ttama bimusobedde.
Ebyokwerinda ku kkooti ne wabweru wa kkooti bya maanyi era nga tewali ppiki ekkirizibwa kutuuka ku kkooti nga n'oyo yenna ayagala okugenda ku kkooti sikyangu kutuuka ng’olina okunnyonyola ennyo.
Mufumbiro mu kaguli.