Poliisi ekutte 29 ku by'okutigomya abantu mu Nansana ne Wakiso

ABAVUBUKA 29 abagambibwa okubeera mu ggaali ezirudde nga zitigomya abatuuze b'e Nansana , Wakiso n'ebitundu ebiriraanyeewo, okubabba, bakwatiddwa.

Poliisi ekutte 29 ku by'okutigomya abantu mu Nansana ne Wakiso
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision
#Nansana #Wakiso #Poliisi #Bantu

ABAVUBUKA 29 abagambibwa okubeera mu ggaali ezirudde nga zitigomya abatuuze b'e Nansana , Wakiso n'ebitundu ebiriraanyeewo, okubabba, bakwatiddwa.

Abakwate bonna, bakuumirwa ku poliisi y’omu Lubigi ku luguudo oluva e Kampala okudda e Hoima ng'okubasunsulamu, kugenda mu maaso.

Abamu ku baakwatiddwa, kuliko Jonathan Ssegawa, Julius Owino, Joseph Kalungi, Godwin Mwesigye, Carlos Sserunjogi, Jackson Kabuye, Rogers Wasswa, Benard Ojambo Dona Mawanda , Peter Lumu n'abalala.

Kigambibwa nti abaakwatiddwa, baabasanze n'enjaga, Mayirungi, n'ebintu ebirala era nga bino, byakuyambako okukola nga obujulizi bwe banaabeera, batwaliddwa mu kkooti.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Patrick Onyango, ategeezezza nti ebikwekweto eby'engeri eno, byakugenda mu maaso, okulwanyisa obumenyi bw'amateeka omuli n'eggaali.