OMUDUUMIZI w’eggye lya UPDF, Gen. Muhoozi Kainerugaba ayungudde ekibinja ky’abajaasi okugenda mu bitundu by’e Kigezi okutegeka ebikujjuko by’olunaku lw’amagye olwa Tarehe Sita olw’omulundi ogwa 45.
Omukolo gwa Tarehe Sita gwa kubeera mu bitundu by’e Kigezi ekikolebwa disitulikiti 6 okuli; Kisoro, Kabale, Rubanda, Kanungu, Rukungiri ne Rukiga.
Akulira ebyobufuzi mu magye (Joint Staff - Political Commissar), Maj. Gen. Henry Masiko ye yakulembedde ekibinja kino okutegeka omukolo gwa Tarehe Sita. Yagambye nti, obukulembeze bw’eggye lya UPDF bwalonzeewo omukolo okutegekebwa mu bitundu by’e Kigezi nga bajjukira omulimu ogwakolebwa mu kitundu kino okununula Uganda. “Ebitundu by’e Kigezi by’ebimu ku bitundu ebyakola ennyo okulaba ng’eggwanga lifuna okununulwa okuva mu mikono gya bamusibiramubbwa,” Maj. Gen. Henry Masiko bwe yategeezezza
Bino yabyogedde ku Lwakutaano ng’asisinkanye abakulembeze b’omu disitulikiti omukaaga ezikola Kigezi nga bakulembeddwa RDC w’e Kisoro, Badru Ssebyala n’ababaka ba Palamenti okuva mu bitundu eby’enjawulo mu Kigezi ssaako abantu baabulijjo.
Maj. Gen. Masiko y’agenda okukulemberamu disitulikiti y’e Kisoro, Kabale ne Rubanda ate Maj. Gen. Paul Muhanguzi, aduumira ekibinja kya UPDF ekyokubiri agenda kukulemberamu disitulikiti y’e Kanungu, Rukungiri ne Rukiga.
Masiko yagambye nti, olunaku lwa Tarehe Sita lujjukiza okutondebwawo kw’eggye lya NRA eryanunula Uganda kati eriyitibwa UPDF. Era lujaguzibwa mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo ng’abajaasi bakola emirimu omuli okutumbula ebyobulamu ebiraga nti, eggye liva mu bantu bennyini.
“Tuddiza ku Bannayuganda mu bitundu eby’enjawulo omuli; okuyonja obutale, okuzimba amalwaliro, amasomero, okulongoosa emyala n’ebirala,” Maj Gen. Masiko bwe yagambye. Yayongeddeko nti, ebikujjuko by’okwetegekera olunaku lwa Tarehe Sita ku mulundi guno bya kutandika mangu okwawukanako nga bulijjo bwe bitandika mu December kuba eggwanga lyetegekera kulonda.