Gavumenti yaakakomyawo Bannayuganda 146 abaali baagenda ku kyeyo e Buwalabu mu wiiki emu

Wiiki eno basuubira okukomyawo abalala 20 so nga n'abalala bangi baakukomezebwawo.

Gavumenti yaakakomyawo Bannayuganda 146 abaali baagenda ku kyeyo e Buwalabu mu wiiki emu
By Jaliat Namuwaya
Journalists @New Vision
#Amawulire #Gavumenti #Bannayuganda #Buwalabu

BANNAYUGANDA 146 abamu ku abo ababadde bavundira mu makomera mu mawanga g'Abawalabu be baakakomezebwa kuno mu bbanga lya wiiki emu.

Wiiki eno basuubira okukomyawo abalala 20 so nga n'abalala bangi baakukomezebwawo.

Bino byakakasidwa minista omubeezi ow'ebyemirimu Esther Davinia Anyakun bweyabadde ategeeza eggwanga webatuuse kunsonga z'okuyamba abantu bano.

 

Yakubirizza ab’enganda, abaffamire n’abo bonna abalina abantu baabwe abali mu makomera e Buwalabu okukozesa omukisa guno ogw'ennaku 90 ezaabaweereddwa gavumenti y’eri okulaba ng’abantu baabwe banunulibwa.

Ennaku 90 zisuubirwa okuggwaako ku nkomerero y'omwaka guno nga 31 December 2024.

Minista yategeezezza nti mu kiseera kino bali mu kwogereza gavumenti z'amawanga okuli Berlin , Kuwait, Jordan n'amalala okubakkirizisa nabo okuyimbula Bannayuganda abavundira mu makomera gaayo.

Yagasseeko nti okusinga abo abateereddwa be bazza emisango emitonotono naye abali ku misango eminene nga egy'okukukusa ebiragalalagala bakyasanze obulipo mu kubawolereza olw’ensonga nti gavumenti z’eri ebibonerezo za basalira gwa kufa.

" Mukomye okugenda n'emindi mu mawanga g'Abawalabu, bwe bakusanga nga ogifuuweeta balowooza obeera ku njaga " minista Anyakun bwe yalabude.

Amangu ddala ng’omuwendo gw'abanunudwa mu makomera guweze era nga bakomezedwawo kuno kabineeti esuubirwa okuyisa ebiragiro ku ngeri gye bagenda okuyambibwamu okuganyulwa mu zimu ku nteekateka za gavumenti ez'okweggya mu bwavu.

Wabula, minisita yagambye nti baakuteekawo amateeka amakakali eri kkampuni ezaawandisibwa nga ezitambuza abalambuzi kyokka nga kati zeefula ne zitandika kutambuza bagenda kukola mu mawanga ag’enjawulo nga kino kirowoozebwa nti kye kivuddeko omuwendo gw’abo abakukusibwa okugenda mu mawanga g'Abawalabu okukola.