EGGWANGA lya Namibia lironze omugagga Godfrey Kirumira okulikiikirira mu Uganda ng’omubaka waalyo.
Kirumira yatuuse e Namibia ku Lwokubbiri ne mukyala we Grace Namara ne bagenda butereevu ku minisitule ye nsonga z’ebweru mu ggwanga lino ne baanirizibwa akulira abaakwanaganya b’ensonga z’e bweru mu ggwanga lino Mario Munwela.
Kirumira 12
Mario yalambuzza Kirumira offiisi z’ekitebbe kya minisitule y’amawanga g’ebweru zonna era bamutegezza nti yabadde alina buli kimu ekikolebwamu nga omuntu agenda okubeera omubaka waabwe mu Uganda.
Oluvannyuma yamukwasizza ebintu ebikozesebwa eby’enjawulo mu offiisi gye bamuwadde omuli akatabo ka VISA za Namibia z’agenda okuwanga abantu okugenda mu ggwanga lino, sitampu, bendera enewubira nga ku offiisi ye ne mu makage ssaako ne bendera egenda okubeera ku mmotoka mwanatambuliranga.
Kirumira 3
Bamugatiddeko ebifaananyi byaba Pulezidenti ba Namibia abaakafuga eggwanga lino okuva lwe lyafuna obwetwaze nga livudde mu mikono gy’abazungu nga March,21,2015.
Abasatu okuli n’ekifaananyi kya Pulezidenti aliko mu kiseera kino Hage Gottfried Geingob, ensawo gy’alina okukwata omubeera ebyama by’e ggwanga ne kalonda omulala.
Kirumira eyabadde mussanyufu okutuuka ku kkula lino yagambye nti si kitiibwa kya bulijjo okutuukako omuntu abadde ssentebe w’abagagga mu Kampala ate nenfukka omubaka w’e ggwanga eddamba erya Namibia mu Uganda ng’ate eriyo abantu abalala abamaanyi abandiyagadde okukitwala.
Yagambye nti mu kiseera kino ali mu kuyiga biki omubaka w’e ggwanga byakola, bweyeeyisa ne kalonda omulala era nga wanagendera okusisinkana Pulezidenti wa Namibia mu June/2023 nga buli kimu akimanyi bulungi.
Kirumira 6
Abakungu mu Namibia bamuyitiddemu emikisa bannayuganda gye balina okuganyulwa mu ggwanga lya Namibia kubanga ggwanga ddene nnyo erikubisaamu Uganda kumpi emirundi esatu erifumbekedde eby’obugagga by’omu ttaka ate nga balina bannansi [2,669,897] bokka okusinziira ku “Worldometer elaboration of the latest United Nations data] owa nga mmande April,24,2023.·
Wano Kirumira weyagambidde nti bannayuganda balina okwenyumiriza mu mukisa gwe okufuka omubaka wa Namibia mu Uganda kubanga abintu bingi bye bagenda okufuna omuli abalina kampuni ezizimba amassomero, enguudo ne kalonda omulala ebiggwa mu kkoowe eryo.
Yagambye nti offiisi ya Namibia mu Uganda agenda kugiteeka ku offiisi ye esangibwa ku Lumumba Avenue e Nakaseero era nga etandiika okukola nga May,01,2023 wakufuba nnyo okulaba nga ayanguyiza Bannamibia abaali mu Uganda obulamu singa wabwerawo alina obwetavvu gy’ali ng’omubaka waabwe.
Waakufuba okuleeta Abannamibia mu Uganda bajje balambule ku Uganda kubanga mulimu eby’obulambuzi bino gattako n’emirimu emirala gye basobola okuteekamu ssente nga bamusiiga nsimbi olwo amawanga gombi gafunemu ekirungi yalabye nga babijjumbira nnyo.
Kirumira 10
Mu kiseera kino Kirumira ali mu nkiiko ez’enjawulo n’abakungu ba Gavumenti okumulaga biki ebiri mu Namibia ssaako naye okubannyonnyola biki ebiri mu Uganda bye basobola okuganyulwamu ng’awerekerwako n’omubaka wa Uganda mu Namibia Omulangira Joseph Ndawula Ssajabi.
Kirumira yagambye bwakomawo agenda kweyanjula ewa Pulezidenti Museveni ng’omubaka wa Namibia oluvannyuma bategeke akabaga akanasula emiti mu Kampala