AKULIRA abasumba b’abalokole mu munisipaali ye Nansana Bp Ivan Lugolobi asabye Gavumenti eyongere amaanyi mu bintu by’emikono kikendeeze ku muwendo gw’abavubuka abagenda mu buwarabu okukuba ekyeyo.
Lugolobi yagambye nti singa abaana basoma eby’emikono ate ne Gavumenti n'ebateerawo entegeka y’okwetandikirawo emirimu, kijja kutangira abo abegomba okugenda okukuba ebyeyo.
Abayizi abatikkiddwa
Yabyogeredde ku ttendekero lya New Life Skills Training Centre e Senge mu disitulikiti ye Wakiso bwe yabadde atikkira abayizi mumasomo ag’enjawulo.
“Twagala abavubuka mutegeere nti musobola okutandikira mu ggwanga nga temugenze kukuba byeyo ne mukola ssente zammwe ezisobola okubayimirizaawo mubulamu bwammwe.” Lugolobi bweyayongeddeko.
Yayongedde nasomooza abo abanyooma eby’omumitwe n'agamba nti abaana bangi basomye wabula ne bakoma mu siniya olw’obufunda bw’ensawo olwo nebasigala nga tebalina kye bakola munsi.
Abayizi abatikkidwa nga bababuulirira
Ye omutandisi w’ettendekero lino Hassan Arinitwe yagambye nti abaana 137 bebaatikkiddwa era bonna bafunye obukugu obugenda okubayamba okutandikawo emirimu egy’enjawulo.
Yabakubirizza obutakoma kweyongerayo kusoma kibayambe okubeera abakugu ennyo era nakutira n’abazadde okufuba okuyigiriza abaana baabwe eby’emikono kibayambe okuvuganya munsi.
“Bangi abataasobola kumalako kusoma olw’ebizibu eby’enjawulo, era twaasalawo tubakunganye tubasomese basoble okufuna obukugu obw’enjawulo mwebyo bye bakola.” Arinitwe bweyayongeddeko.
Yasabye gavumenti abayizi mu matendekero ebatekemu ssente ng’ezemyooga ne Parish Model basobole okusoma ate nga bwebafuna nentandikwa mwebyo bye basoma.
Abaatikkiddwa baakuguse mukukola keeki, okufuba, okukanika piki piki, okutunga, okukanisa essimu, okusiba enviiri, okukanika kompyuta namasomo amalala era nga bonna baawereddwa satifikeeti.