Gavumenti egenda kwewola obuwumbi 800 okulwanyisa ebbula ly'emirimu

GAVUMENTI etegeezezza nga bwegenda okwewola obuwumbi 800 nga bwebukadde bwa ddoola za America 200 okuva mu bbanka y’ensi yonna okulwanyisa obwavu n’ebbula ly’emirimu.Bino bitegeezeddwa minisita omubeezi ow’ebyensimbi Henry Musasizi bwabadde alabiseeko mu kakiiko ka palamenti akalondoola eby’enfuna by’eggwanga akakubirizibwa omubaka wa Bukedea County John Bosco Ikojo.

Minisita Henry Musasizi ng'ali mu kakiiko
By Edith Namayanja
Journalists @New Vision

GAVUMENTI etegeezezza nga bwegenda okwewola obuwumbi 800 nga bwebukadde bwa ddoola za America 200 okuva mu bbanka y’ensi yonna okulwanyisa obwavu n’ebbula ly’emirimu.

Bino bitegeezeddwa minisita omubeezi ow’ebyensimbi Henry Musasizi bwabadde alabiseeko mu kakiiko ka palamenti akalondoola eby’enfuna by’eggwanga akakubirizibwa omubaka wa Bukedea County John Bosco Ikojo.

Ssente zino Gavumenti eyegala kuzikozesa okuvugirira n’okuwanirira amakolero amatonotono Ssaako ne buzinensi obutono obutasobola kwewola nsimbi mu bbanka z’ebyobusuubuzi.

Musaasizi agambye nti Uganda wetutuukidde olwaleero, ebitundu 75% byabavubuka abali wansi w’emyaka 30, wabula nga bangi Kubo ebitundu 12% tebalina mirimu nga ne kampuni nyingi entonotono zisanga obuzibu okwewola ensimbi mu zi bbanka.

Minisita Henry Musasizi ng'ali mu kakiiko

Minisita Henry Musasizi ng'ali mu kakiiko

Agumizza ababaka nti ensimbi zino zakudizibwayo ku magoba amatono ddala ga kitundu kimu (1%) era nga zakubeera mu bbanka enkulu..

Gavument egamba nti ebbanga lino, lyakutaasa emirimu gyabannayuganda 530,000, bu buzinensi obutono obusoba  mu 40,000  songa ebibiina bya SACCO  ebisoba mu 200,000 byebigenda okuziganyulwaamu nga nabyo byewola era nga okuzaayo ensimbi zino gavumenti yakukikola mu bbanga lya myaka 38. 

Gavument egambye ensimbi zino zigenda kukozesebwa okulwanyisa obwaavu mu bitundu byeggwanga ebyenjawulo ebibadde birekeddwa emabega mu byenkulakulana okuli Acholi  ebibalo gyebiraga nti obwaavu buyimiridde ku bitundu 67%, Karamoja obwaavu gyebuyimiridde ku bitundu 65%, Busoga obwaavu buli ku bitundu 29% songa Bukedi obwaavu buyimiridde ku bitundu 34%.