Gavt. etadde envubo ku ttaka eririko enkaayana

GAVUMENTI ng’eyita mu minisitule y’ebyettaka, amayumba, n’enkulaakulana y’ebibuga etadde envubo ku ttaka erikaayanirwa ku byalo 5 mu disitulikiti y’e Mpigi.

Minisita Nabakooba ng’ayogera eri abatuuze.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

GAVUMENTI ng’eyita mu minisitule y’ebyettaka, amayumba, n’enkulaakulana y’ebibuga etadde envubo ku ttaka erikaayanirwa ku byalo 5 mu disitulikiti y’e Mpigi.
Bino kuliko; Nundu, Kalagala, Nakibanga A, B, ne D mu Town Council y’e Kayabwe. Minisita w’ebyettaka, Judith Nabakooba, yagambye nti envubo ezaateereddwa ku ttaka lino ziyimirizza emirimu gyonna egibadde gikolebwako kisobozese ttiimu ye ey’ekikugu okuggulawo ensalo n’okuzuula obunene n’obwannannyini ku ttaka lino.
"Tetumanyi oba ttaka lya Kabaka oba lya Gavumenti. Abantu bamaze ebbanga nga bawa obusuulu mu Buganda Land Board kyokka kizuuliddwa nti waliwo omuntu omulala alina ekyapa ku ttaka lye limu," Nabakooba bwe yagambye mu lukiiko olwatudde ku Nakibanga UMEA P/S.
Ssentebe w’ekyalo Nakibanga, Joseph Kakande, yagambye nti mu July wa 2014, waliwo omusajja Gonzaga Lukyamuzi, eyategeeza nga bw'alina ebyapa ku byalo bino mu mannya ag’enjawulo okuli; Christine Namata (Block 253 poloti 57), Gonzaga Lukyamuzi (Block 253 poloti 58) ne Katonga Combined Holdings Uganda Limited kupoloti 59 nga batandise okulisalamu poloti ga batunda.
"Twakizuula nti Lukyamuzi ye yekka avunaanyizibwa ku byapa bino. Mu kiseera kino tetumanyi kiddako kuba tumaze emyaka egiri mu 80 nga kuliko n’ebiggya bya bajjajjaffe,’’ Kakande bw’agamba.
Nabakooba yagambye nti ebyapa bino byakusazibwamu kuba nti waaliwo emivuyo mu kubikolako. Yalagidde akulira ebyamateeka mu minisitule, Moses Ssekitto okunoonyereza ku nsonga eno n’okuzuula abaakola ku byapa bino kiyambe okukwata abeenyigira mu mivuyo gino.
"Tujja kubafuna ne bwe banaaba baawummula. Balina okutubuulira abaali baliraanwa mu kiseera ekyo kuba balina okuba nga bassa emikono ku ndagaano zaabwe," bwe yagambye.
Yawunzise asazeewo nti okusinziira ku byasoose okuzuulibwa, enkola eyaviirako okufulumya ebyapa bino yali terina makulu, era bigenda kusazibwamu. Anenyezza obukiiko bw’ettaka olw’okwenyigira mu mivuyo ku ttaka lino n’agamba nti abasinga bagulirira okufulumya ebyapa.
"Mutuule ntende ku ttaka lyammwe. Temutiisitiisibwa muntu yenna mulina eddembe nga abeebibanja,’’ bwe yagambye. Nabakooba yalagidde poliisi okukakasa nti embeera esigala nga bw’eri lipoota ya minisitule esooke efulume.
Ssentebe k’ebyettaka ku disitulikiti yagambye Nabakooba nti Nakibanga erina ebyapa 80 ebiri mu ngeri y’emu, n’amusaba wiiki emu akole lipoota