OBWAKABAKA bwa Buganda busabye abantu okulafuubanira emirembe mu kiseera ky'Okulonda

OBWAKABAKA bwa Buganda busabye abantu okulafuubanira emirembe mu kiseera ky'Okulonda

Dr. Anthony Wamala ng'ayogera
By Dickson Kulumba
Journalists @New Vision

OBWAKABAKA bwa Buganda busabye abantu okulafuubanira emirembe mu kiseera ky'Okulonda

Okusaba kuno kutuusiddwa Minisita w'Obuwangwa, ennono n'Obulambuzi, Dr. Anthony Wamala ku mukolo kwakikkiridde Katikkiro wa Buganda okutikkula abantu okuva mu ssaza ly'e SSESE n'eggombolola Mutuba IV Kawuga okuva e Mukono- Kyaggwe nga gubadde Bulange-Mmengo n'agamba nti tewali nsonga lwaki omu atema Munne olubale olw'ebyobufuzi.
" Eby'obufuzi webiri era ffenna tulina byetukiririzaamu naye  ekisinga obukulu gy'emirembe gyaffe ng'abantu. Tewali nsonga ekukubisa muno lubale olw'okuba kyokiririzaamu, sikyakiririzaamu," Minisita Dr. Wamala bweyagambye.

Dr. Wamala yeebazizza abaami olw'omulimu ogw'ettendo gwebakola mu kukunga abantu okwenyigira mu nteekateeka z'Obwakabaka n'agamba nti eno y'emu ku nsonga lwaki baagala enkola ezzibwe mu mateeka ga Uganda, buli kitundu kikole ku nsonga zaakyo.

" Ab'e Ssese mwogedde ku kusoomoozebwa okuli ku nnyanja. Alipoota zonna tuzifunye era Obwakabaka bugenda kugezaako, okutuukirira abakwatibwako, okuteereeza embeera eno ey'okuba nti kumpi temukyaganyulwa mu  nnyanja," Dr. Wamala bweyagumiza Abassese.

Omubaka Omukyala owa disitulikiti ye Kalangala mu Palamenti, Hellen Nakimmuli abadde amaze okumutegeeza ng'Abajjasi gavumenti eyawakati beyaleeta ku nnyanja Nalubaale bwebeezza omulimu gw'obuvubi nga y'emu ku nsonga lwaki Abassese batubidde mu bwavu mu kiseera kino.

Dr. Anthony Wamala ng'awaayo certificate

Dr. Anthony Wamala ng'awaayo certificate


"Abassese babadde bantu abalina ssente era nga tetubeera na bweralikirivu nazo. Awo wewaali waava enjogera egamba nti ssente ozirya kivubi. Embuga twaleetanga ebintu mu bungi naye bannaffe abo buli kimu ku nnyanja baakyezza," Nakimmuli bweyayogedde.

Omwami w'essaza ly'e Ssese, Augustine Kasirye yeebazizza Obwakabaka olw'enteekateeka ez'enjawulo zebutuusa ku bizinga okuli okulwanyisa siriimu, Okukunga abantu  mu bulimi era n'awera nti ye ne bakulembeze banne bagenda kufuba okulaba nga batumbula ekitiibwa ky'essaza lino.

Ku mbeera y'ennyanja Nalubaale ng'essaza lino mweritudde, Kweba Kasirye agambye nti enguzi yesinze okuleeta ebizibu ezbisangibwa abatuuze ng'eretedde abagenyi mu kitundu okwezza buli kintu.

Nnaalongo Prossy Nakitende Ow'eggombolola ye Bufumira ategezezza nga bwebatandise okulima ebinazzi n'essuubi nti bijja kubayamba okutumbula eby'enfuna kuba ennyanja Nalubaale baasigala kuginywamu mazzi bwatyo n'asaba Obwakabaka okuvaayo neddoboozi okugamba ku gavumenti eyawakati okutebenkeza omulimu gw'obuvubi.

Minisita w'amawulire mu Buganda, Israel Kazibwe yabaddewo ku lwa Minisita wa gavumenti ez'ebitundu Joseph Kawuki agenze e Dubai okutegeka okukyala kwa Mayiga mu kitundu ekyo ku Lwokutaano September 13,2025.

Ye Christopher Kavuma nga ye Mumyuka  w'Omwami w'eggombolola ya Ssabaddu Mugoye ategeezezza ng'Obutonde bwensi mu kitundu kino bwe bulinyiriddwa ekisusse nga wetaaga kubeerako ekikolebwawo okubuzaawo kuba tebakyalina bibira.

Kavuma era abuulidde embuga nga bwebakoze Pulojekiti ez'enjawulo saako emikago gyebasuubira nti gijja kuyingiriza eggombolola ssente.

Omukolo gwetabiddwako Omuwanika wa Buganda eyawummula, Eve Nagawa, Omumyuka asooka owa Ssekiboobo atwala Kyaggwe Moses Ssenyonjo, Katikkiro w'ekika ky'emmamba eyawummula Omutaka Mulindwa Kagenda Luyombo, Irene Nakanwagi, atwala eby'obulamu ku Lukiiko lwa disitulikiti ye Kalangala nga y'akikkiridde Ssentebe wa disitulikiti.
Ensimbi 44,395,000/- zezireteddwa nga kuzzo 21,050,000/- zireteddwa abe Kawuga-Mukono ate abe Ssese nebaleeta 23,345,000/-