NSSF ewadde abateresi essuubi

EKITTAVU ky’abakozi ba Gavumenti ekya NSSF kirangiridde nga bwe kiwezezza ebyobugagga bya buwumbi 26,000 omwaka gw’ebyensimbi ogwa 2024/25 we gwaggweereddeko.

NSSF ewadde abateresi essuubi
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

EKITTAVU ky’abakozi ba Gavumenti ekya NSSF kirangiridde nga bwe kiwezezza ebyobugagga bya buwumbi 26,000 omwaka gw’ebyensimbi ogwa 2024/25 we gwaggweereddeko.
Ssente zeeyongedde okuva ku buwumbi 22,100 ze baalina omwaka oguyise nga bye bitundu 17.5 ku 100 ebyeyongedde.
Akulira NSSF, Patrick Ayota yagambye baasuubira nti bajja kuweza obuwumbi 20,000 mu June wa 2025. Kyokka we batuukidde kati nga bayisizzaamu obuwumbi mukaaga.
Minisita w’ebyensimbi, Matia Kasaija asuubirwa okulangirira amagoba eri abateresi mu lukiiko lw’omwaka nga September 22, 2025. Ekitongole kyasuubizza nti omwaka guno baakugaba amagoba ga ssente ezisukka ebitundu 10 ku 100. Omwaka gwa 2023/24, NSSF yagaba amagoba ga bitundu 11.5 ku 100 eri abakozi abatereka n’ekitongole.
Ssente abakozi ze batereka zeeyongera ebitundu 10.4 ku 100 ne zituuka ku buwumbi 2,130 ate ssente ze bayingiza zeeyongera okuva ku buwumbi 3,200 okutuuka ku 3,520. NSSF yasasula obuwumbi 1,320 eri bammemba abawera 43,501 kyokka nga baakendeerako okuva ku 44,250 abaasasulwa mu mwaka ogwali guyise. Kino baategeeza nti kyava ku muwendo gw’abantu abangi abatuuka mu myaka egiwummula ne basalawo okulekayo ssente zaabwe zigira zibakolera amagoba.
We twatuukira mu June, bammemba 79,000 abawezezza emyaka 55 n’okweyongerayo baali baleseeyo ssente ezisukka obuwumbi 1,000 okuva ku buwumbi 610 ze baali baleseeyo emyaka ebiri emabega.
Ekitongole okukola obulungi bakiteeka ku mbeera y’ebyenfuna eyeeyongedde okulongooka mu ggwanga nga bikulidde ku bitundu 6.3 ku 100 ate n’okulinnya kw’emiwendo gy’ebintu tekupadde kusukka bitundu 3.8 ku 100.
Enkola y’okukkiriza abantu ssekinoomu okutereka okutandikira ku ssente 5,000/- nayo esikirizza abakozi abawera 38,000 okwegatta ku kittavu.
Ayota agamba ekirooto kyabwe kyakulaba bongera eokusikiriza abantu abakola okutereka nabo kiyambe ekitongole okwongera okukula.