KATIKKIRO Charles Peter Mayiga asabye akakiiko k’ebyokulonda okukolera mu mazima, obwesimbu n’obwenkanya, eddoboozi ly’abantu lisobole okuvaayo.
Yagambye nti ebiva mu kalulu bwe bibeera byesigika, ensi etebenkera, olwo abantu ne babakkana n’eddimu ly’okuzimba eggwanga lyaabwe.
Yabadde ku mukolo kwe yatikkulidde oluwalo okuva mu ggombolola okwabadde , Busimbi-Mityana; 15,370,000/-, ne Bukuya (obukadde 30), zombi okuva e Ssingo, Buwama- Mawokota abaaleese obukadde 17 n’aba New England - Amerika 10,500,000/-, abavubuka mu ssaza ekkulu erya Kampala 200,000/- nga zonna wamu zaabadde obukadde 73.
Mayiga era yalabudde akakiiko okwewala okulemesa okuwandiisa abamu ku beesimbyewo okuggyako ng’amateeka tebagatuukirizza.
Ate ebibiina by’obufuzi, Mayiga yabisabye okuwa kkaadi abakulembeze abalumirirwa abantu so ssi abo abanoonya okwogerwako.
Ssentebe wa Disitulikiti y’e Mpigi, Martin Ssejjemba yasabye wabeerewo okukwatagana n’Obwakabaka okulondoola ettaka mu kitundu kino kitangire ekisengula bantu era n’asaba Obwakabaka okuwagira abakulembeze abavuddeyo okutwala ebifo mu gavumenti kubanga bituddemu obuyinza obulimu ebyaffe.
Ssentebe w’ekibiina ki Lugongwe Gold Miners, Processors & Buyers Group, Ssempewo Muddo yasabye Katikkiro, alabe ng’Obwakabaka bukwatagana ne gavumenti eya wakati batereeze omulimu gwaabwe kubanga gubeezezzaawo abantu nkumu ng’ekibiina kino kyokka kirimu bammemba 14,000.
, gavumenti ereme kulowooza