ABASAJJA basatu abagambibwa okutolosa bba wa Justine Nameere anoonyezebwa ku misango gw’obubbi, bavunaaniddwa.
Juma Kakooza 33, akulira ebyokwerinda ku woteeri Mel-Lin nga mutuuze w’e Nakasero mu Kampala, Jessy Lugeya 24, omutuuze we Kireka ne James 37 omutuuze w’e Kirinnya mu munisipaali ye Kira mu disitulikiti ye Wakiso be basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Winnie Nankya Jatiko ne baggulwako omusango gw’okutolosa bba wa Nameere.
Kigambibwa nti, nga September 3,2025 ku wooteeri ya Mel-Lin mu Kampala abawawaabirwa baatolosa Kennedy Nsubuga nga ono ye bba wa Nameere nga bakimanyi bulungi nti yali anoonyezebwa ku misango gw’obubbi. Okusinziira ku mpaaba ya kkooti, Nameere ne bba baalina
okukwatibwa ku musango gw’okubba Jennifer Nakanguubi amannyiddwa nga Full Figure eyalabikira mu katambi nga bamukuba ku luguudo lwa Kyaddondo bwe yali agenda okwetaba mu lukung’aana lwa bannamawulire mu Kampala.
Abasirikale baagezaako okweyanjulira abakuumi ku wooteeri eyo wabula Kakooza yabategeeza nga be banoonya bwe baali bafulumyeemu era nga yali tamanyi budde ki bwe balina kukomawo.
Omuwaabi wa gavumenti mu musango guno, Grace Amy yategeezezza kkooti nga okunonyereza bwe kuwedde n’asaba omulamuzi abaweeyo obudde okutegeka abajulizi.
Abawawaabirwa baasabye kkooti okubeeyimirira wabula baabadde tebatadde biwandiiko biboogerako ku mukutu oguddukanyizibwako emisango.
Omulamuzi yabasindise mu kkomera e Luzira okutuusa nga October 3, 2025 lwe banadda okusaba okweyimirirwa.
Full Figure yakubibwa abantu abatannakwatibwa nga August 29, 2025