SSAABAWANDIISI wa NRM leero Richard Todwong leero akulembeddemu bannakibiina kya NRM okutwalayo emikono eri akakiiko ak'ebyokulonda egisemba Pulezidenti Museveni okuddamu okuvuganya ku kifo ky'obukulembeze bw'eggwanga mu kulonda kwa 2026.
Olw'Obungi bw'abawagizi ekkubo lyakwatiride okuva ku kitebe ky'ekibiina e Kyadondo okutuuka ku kakiiko k'eggwanga ak'ebyokulonda mu industrial area ekyaviriddeko ebyentambula okusanyalala nga mu bawagizi bano mwe mwabadde n'omuyimbi ow'erinnya Alien Skin .
Gyo emikono egisemba Gen.Museveni gyebakunganyiza gibadde obukadde 2 n'emitwalo 20 era olw'obungi bwagyo bawalirizidwa okugitika ku ki mmotoka ekinene ddala kwebagivugide okugituusa ku kakiiko k'eggwanga ak'ebyokulonda.
Ssaabawandiisi wa NRM Richard Tadwong ng'awaayo emikono
Nga batuuse ku kakiiko K'ebyokulonda Todwong nga ali wamu n'akulira akakiiko k'ekibiina ak'ebyokulonda Dr.Tanga Odoi ssaako n'abanene abalala mu kibiina banjudeyo emikono egisemba pulezidenti Museveni era ne basaba ab'akakiiko okugyelobozaamu kubanga bafunye mingi ddala.
Yannyonyode nti emikono gikunganyizidwa okuva mu distulikitti 146 okwetoloola eggwanga era bamattivu nti Kano kabonero kalagira ddala nti Gen.Museveni ku luno akalulu wakukawangulira waggulu ddala n'ebitundu 75 ku 100.
Basekerede ab'oludda oluvuganya nti byebasiba bikutuka era ku mulundi guno bagya kusereba .
Oluvanyuma lw'okutwalayo emikono nga 23 September pulezidenti Museveni lwagenda okusunsulwa ku kakiiko k'eggwanga ak'ebyokulonda era oluvanyuma agya kwogerako eri abawagizi be ku kisaawe e Kololo nga wasubirwa okukunganirayo abantu abasoba mu kakadde Kamu.
Eno agya kubanjulira enteekateka ze eza kkampeyini nga bwezinatambula ssaako n'okubanyonyola ebirungi NRM byetuseeko ssaako n'ebyo byasuubira okukola eggwanga mu kisanja ekigya bwanabera ayiseemu