OMUKUNG’AANYA wa Bukedde, Michael Mukasa Ssebowa alambudde kkampuni ya Ugachick Poultry Breeders Ltd e Magigye abaawaddeyo enkoko babeddwa ezigenda okuweebwa abawanguzi mu kikapu ky’ebyassava bya Ssekukkulu mu kazannyo ka
Bukedde aka Gabula Ssekukkulu ‘Sadida’.
Ssebowa yalambiziddwa avunaanyizibwa ku bifulumizibwa mu Ugachick (production manager) Suzan Nyakato n’akulira ba kitunzi ba Ugachick, James Kiwalabye.
Baamulaze emitendera gyonna egituukana n’omutindo gw’ensi yonna omuyisibwa enkoko okuva lwetuuka ku kkampani okutuuka lwefulumizibwa ng’ennyama.
Nyakato yalambuludde ku mutindo gw’enkoko za Ugachick n’ategeeza nti bagobera buli
mutendera ogusingayo obutuufu nga balina satifikeeti okuli eya UNBS, Halal, ISO ne YUM ng’eno ekakasa omuntindo gw’enkoko yaabwe okutundibwa ku katale
k’ensi yonna.
Akulira bakitunzi ba Ugachick, James Kiwalabye yalambuludde ku bipimo bye balina ku katale ate nga bagitunda ku miwendo egisoboka omuli; kkiro ttaano ku 85,000/-,
kiro bbiri ku 38,000/- ne kiro emu ku 18,000/-. Yagasseeko nti enkoko yaabwe eri mu bifo awatundibwa enkoko yaabwe okwetoloola eggwanga, mu supamaketi zonna
n’amaduuka amalala ag’ebyokulya n’akubiriza abantu okujjettanira.
Ssebowa yasiimye Ugachick olw’okubeeranga abasaale mu kuwagira enteekateeka ya Gabula Ssekukkulu buli mwaka era n’akunga abantu okulya enkoko ya Ugachick wonna we bagisanze kubanga ekakkasiddwa nti ya mutindo gwa waggulu.
Ono era yasiimye abavujjirizi abalala abawagidde Bukedde mu nteekateeka ya gabula Ssekukkulu omwaka guno okuli Dura Motors mu Ndeeba, abakuleetera ppikipiki ekika kya Senke ne Tuk Tuk Zongshen abaawaddeyo Tuk Tuk ez’okuwangula ne Governors Hotel Ltd e Mukono abagenda okusuzaabawanguzi bataano n’abaagalwa baabwe ebiro bibiri mu wooteeri eno n’okubalambuza ebifo eby’enjawulo e Jinja.
Akalulu akasigaddeyo kagenda kulondebwa nga December 20, olwo abawanguzi bannamukisa 83 abaasigaddeyo lweb agenda okumanyibwa okuli n’abagenda okuwangula tuk tuk ebbiri ne ppikippiki ya senke endala eyasigaddeyo olwo ebirabo byabwe babifune bonna ku Mmande nga December 23, 2024.
Omukisa gw’okwetaba mu kazannyo gukyaliwo ng’omuntu okuwangula, ogula olupapula lwa Bukedde ku 1,000/- lwokka.
N’ojjuza akakonge akali ku muko ogwokubiri oluvannyuma n’okatwala ku ofiisi za Vision Group efulumya ne Bukedde mu Industrial Area oba okukawa omu ku batunda amawulire n’akatuusa